Chameleone abasawo mu America bamusaze akataago okumulongoosa ekirwadde ekimulumidde ebbanga.

JOSE Chameleone abasawo mu America bamusaze akataago okumulongoosa ekirwadde ekimulumidde ebbanga.

Chameleone abasawo mu America bamusaze akataago okumulongoosa ekirwadde ekimulumidde ebbanga.
NewVision Reporter
@NewVision
#Amawulire #Kataago #Kulongoosa #Kirwadde #Basawo #America

JOSE Chameleone abasawo mu America bamusaze akataago okumulongoosa ekirwadde ekimulumidde ebbanga.

Chameleone, eyatwalibwa Juliet Zawedde mu December w’omwaka oguwedde mu ggwanga eryo okumujjanjaba, yamusoosa mu ddwaaliro okufuna obujjanjabi obusooka n’okumulabirira afune amaanyi agagenda mu ‘ssweeta’ okumulongoosa nga yeesobola.

Ssekamatte Ng'akwatiridde Chameleon Okumuzzza Ku Kitanda.

Ssekamatte Ng'akwatiridde Chameleon Okumuzzza Ku Kitanda.

We yamutwalira, Chameleone yali amaze emyaka nga ena ng’alumizibwa mu lubuto olw’akataago akazaala amazzi ne gamujjula mu lubuto era yagenda tasobola kutambula. Olwo yali ajjanjabirwa mu ddwaaliro lya Nakasero gye baamutwala ekippayoppayo nga bamuggya mu maka ge mu Akright ku lw’e Ntebe.

Mu America, Zawedde yasasula byonna ebyetaagisa abasawo era omuyimbi oyo n’asanyusa bangi olw’endabika ye ng’azzeeko n’akabiri.

Essanyu lyeyongera abawagizi be, bwe baamulaba ng’azzeemu n’okusisinkana mutabani we, Abba Marcus Mayanja n’abaana be abalala abali mu ssaza ly’e Minnesota mu America.

Wiiki eno ng’etandika, Chameleone ng’amannya amatuufu ye Joseph Mayanja, yalumbibwa ekintu ekyamusika n’atwalibwa mu ddwaaliro gye baamulongooserezza akataago.

Chameleone, eyalongooseddwa mu ddwaaliro erimu mu kibuga Boston eky’essaza lya Massachusetts mu America, mu ssweeta yavuddeyo era akatambi akaalabise ng’ali ne mikwano gye okuli Grace Ssekamatte eyali owa Golden Band, kaasoose kutiisa bantu nga kalaga Chameleone ataliimu luyingo.

 Baakitegedde luvannyuma nti yabadde ava kumulongoosa. Agenze ayongera okubeera obulungi era yasuubizza okukomawo nga wa kabi ayongere okukakasa nti ye musawo (dokita) w’emiziki.

Mu America, Zawedde yamutwala ne muto we, Weasel (Douglas Sseguya) amujjanjabe era endabika yaabwe bombi esanyusa.