EKISIIBO ky’Abagoberezi ba Yesu Kristo kyatandise olunaku lw’eggulo ku Lwokusatu ng’abantu bagenda kusiiba mu ngeri y’okwebonereza nga bakkiriza nti, kino kisembeza omukkiriza okumpi ne Katonda we n’okutuukiriza essaala zaabwe.
Okusiiba kutwala wakati w’essaawa 12 ku 24 wadde waliwo abayinza okusukkawo nga tebalidde, abalala banywa mazzi gokka so nga waliwo abalya akatono oba okunywa omubisi gw’ebibala.
Kyokka waliwo n’abasiiba kyeyagalire olw’obulamu bwabwe. Bano basiiba mu ngeri ez’enjawulo okuli:
l Essaawa 12 n’abasiiba okuva ku ssaawa 12:00 ez’oku makya okutuuka ng 12:00 ez’olweggulo.
l Okusiiba essaawa 16 nga balya wakati w’essaawa 6:00 ez’omu ttuntu okutuuka ku 2:00 ez’ekiro.
2. Kendeeza sukaali: Kendeeza sukaali ng’ogenda okusiiba nga weewala okulya ebiwoomerera nga bisikwiiti, keeki, sswiiti kuba wadde mu kusooka ogenda kuwulira nga akkuse, wabula oluvannyuma ogenda kutandika okulumwa enjala n’okuwulira obukoowu. Singa kulya mmere ewa omubiri amaanyi ng’omuceere, lumonde n’endala kw’ossa ezimba omubiri ng’ennyama n’ebijanjaalo.
3. Nywa amazzi agawera:
Okusiiba kw’eddiini ezimu kugaana okulya n’okunywa ng’etteeka ly’okusiiba okutuufu. Wabula singa eddiini yo ekukkiriza okunywa, kikulu okwekuuma ng’olina amazzi mu mubiri gwo kikuyambe okugwongera amaanyi n’okukutangira obutakaluubirizibwa
l Abalala basiiba essaawa 24, olunaku lumu oba bbiri mu wiiki ate abalala balya katono nnyo okumala ennaku bbiri mu wiiki.
OKUSIIBA OKUTUUFU
Dr. Niwagaba Ambrose, okuva mu ddwaaliro lya Nisa Medical and Nursing Services e Masanafu - Lubaga, agamba nti, okusiiba y’embeera omuntu gy’abeeramu nga talidde okumala olunaku okutuusa ng’olubuto lukubye emmere n’emuggwaamu. Emitendera gy’okusiiba:
1. Tandika mpola: Weetekereteekere okusiiba ng’ogenda osala emmere gy’olya okumala ennaku oba wiiki nga tonnatandika kusiiba kwennyini kuba okutandika olumu kugenda kukaluubiriza omubiri ekiyinza okuvaako okufuna obuzibu.
Abasajja nga balya emmere okuli enva endiirwa n’ennyama.
ABANTU ABATALINA KUSIIBA
Dr. Niwagaba agamba nti, enzikiriza ez’enjawulo zirina abantu be zirambika obutasiiba wabula n’abasawo baliko abaweebwa amagezi obutasiiba olw’embeera z’obulamu bwabwe.
Mu bano kuliko bamaama abali embuto oba abayonsa kuba babeera baliira abantu babiri.
Abali ku ddagala nga erya sukaali n’abali ku ddagala eririna okumiribwa ng’olidde emmere. Abaana abato, abakola ekiro n’abalala.
EBIRUNGI EBIRI MU KUSIIBA
Okuwagala obwongo: Dr. Niwagaba annyonnyolanti, okusiiba kuyamba okuwa obwongo amaanyi mu nkola yaabwo omuli; Okujjukira, okukwataganya ensonga ez’enjawulo mu kaseera ke kamu, okwekenneenya ensonga, okuteekateeka, okugonjoola
ebisobobye n’ebirala.
Okukola ku mmere: Kiyamba okuzimba n’okukuuma ekitundu ekikola ku mmere nga kiramu bulungi olwo n’osobola okufuna emigaso egiri mu mmere gy’olidde. Okumala akaseera ng’olubuto teruliimu mmere kiyamba ekitundu kino okuwummula mu kukuba emmere olwo ne kinuuna ebirungo ebigirimu okuyingira omubiri.
Okwejjanjaba kw’omubiri:
Okusiiba kugambibwa okwongera amaanyi omubiri okwejjanjaba ng’ofunye obuvune ate n’okukendeeza situleesi.
Kiwewula ku nkola y’omubiri ku kirungo kya Insulin ekiyinza okuvaako omuntu okutawaanyizibwa ekirwadde kya sukaali.
Kuyamba ku balina puleesa: Kiyamba abalwadde ba puleesa nga okusiiba kukendeeza obungi bw’ebisavusavu mu musaayi n’emisuwa ekigiviirako okufunda
n’okukendeera kw’obungi bw’omusaayi olwo ne gutambula awatali kukaluubiriza mutima kukozesa maanyi mangi okugupika.
Okulwanyisa omugejjo: Okusiiba era kusobola okukozesebwa okulwanyisa omugejjo
kyokka kikaluubirira okukozesebwa ekiseera kyonna.
Okulwanyisa ebiwuka: Mu bamu, kikozesebwa okulwanyisa ebiwuka by’omu lubuto kuba bisobola okufulumizibwa mu nnaku 4-5 ez’okusiiba