Amawulire

By'okola n'oyanguyirwa okulimira mu kiyumba

OKULIMIRA mu biyumba y’emu  ku nkola eyongedde okwettanirwa  abantu naddala olw’enkyukakyuka mu mbeera y’obudde ate  n’okukendeera kw’ettaka.

Abaabadde mu mwoleso nga basomesebwa okulimira mu kiyumba ekizimbiddwa mu bintu ebyabulijjo.
By: Bukedde Omusunsuzi, Journalists @NewVision

OKULIMIRA mu biyumba y’emu  ku nkola eyongedde okwettanirwa  abantu naddala olw’enkyukakyuka mu mbeera y’obudde ate  n’okukendeera kw’ettaka.
Dr. Diana Nambatya Nsubuga, bwe  yabadde asomesa okulimira awafuna  mu gimu ku misomo egyabadde mu mwoleso gwa Harvest Money e Namboole yategeezezza nti, okufuna  mu kulima tekikyali ku bugazi bwa  ttaka wabula enkola ezikusobozesa
okufuna amakungula agawera mu  kafo akafunda.
“Leero tulina okulaba nga tukozesa  ekitono kye tulina okufuna ekisinga.   Waliwo   nkola ez’enjawulo ng’olimira mu bipiira, bookisi z’embawo, baketi, amabaafu, ekkutiya n’ebirala. Wabula ggwe alina obusobozi osobola okuteekawo ekiyumba omulimirwa
nga kino nakyo kikola ssente,” Dr.  Nambatya bw’agamba.

OKULIMIRA MU KIYUMBA
Okulimira mu kiyumba ng’oggyeeko okukuyamba okulima ekiseera  kyonna, kiyamba okulwanyisa ekirwadde kya Kiwotoka ekitawaanya  abalimi naddala ab’enva endiirwa  ng’ennyaanya, bbiriηηanya, emboga, entula, obutunda, kaamulali n’ebirala.  Joel Ssenjala, akulira Holland Greentech, agamba nti, bbeeyi y’ekiyumba eri waggulu era bang    kibalemesa okuzigula wadde nga bamanyi bulungi amagoba ge  basobola okufuna nga balimidde mu kiyumba.
“Twatandika okuzimba ebiyumba omulimirwa nga tukozesa  ebikozesebwa ebyabulijjo mu bugazi bwonna okuli; emiti, ekiveera n’ekitimba kisobola okukutwalako obukadde nga 15 kyokka ng’ekiyumba ky’ekimu ng’okiguze  mu bazitunda kisobola okugula obukadde obusoba mu 30”, Senjala bw’agamba.
Kino kitegeeza nti, bbeeyi y’ekiyumba ekikoleddwa mubikozesebwa ebyabulijjo ebeera
 bitundu 50 ku 100 ku y’ekiyumba ky’ebyuma wabula era kiwangaala  kitundu kya myaka gy’ekiyumba eky’ebyuma, kyokka kikuwa amakungula amalungi ddala. Ekiyumba kimu osobola okukikozesa okulima ebirime eby’enjawulo ng’okyusakyusa era nga Ssempijja alima cukamba omuwanvu  English), obunyaanya (obutono
n’eza bulijjo), kaamulali. Singa obeera ng’okoze ekiyumba kya ffuuti 9 ku 30, mugendamu layini mwenda ezikolebwa ng’obugulumu kozesa amayinja ng’ayiwa ku
kiveera ekigumu olwo n’asimbamu ebirime, ng’ekiyumba kino kisobola  okugendamu ebikolo 1,000 ebya cukamba oba ennyaanya ebikolo 1,800.
Ssenjala agamba nti, ekiyumba kino bakizimba ne bassaako byonna ebyetaagisa ng’amazzi n’empiira ezigatambuza olwo n’obeera ng’osobola okulima omwaka gwonna  ekikuyamba okukola amagoba kuba osobola okubeera n’amakungula mu kiseera ng’abalala tebalina.
OKUFUNA MU KULIMIRA MU KIYUMBA
Dr. Pamella Bakkabulindi, omulimi ku kyalo Kaganja-Nakifuma n’e Kabembe omuwanguzi w’empaka z’Omulimi Asinga 2024, agamba nti, omuntu agenda okulimira mu kiyumba, ng’agenda mu nnimiro y’ebweru olina okusooka okusalawo
BY’OKOLA N’OYANGUYIRWA OKULIMIRA MU KIYUMBA
Mmande March 3, 2025 Bukedde 13 ku ky’ogenda okulima. Annyonnyola nti, okwawukana n’ebweru, olw’okuba wano wafunda ate ng’ekiyumba bya  bbeeyi, weetaaga okulima ekirime ekirina akatale osobole okuggyayo z’otaddemu.
Ng’omaze okusalawo, olina okugula ensigo ekika ekirimirwa u kiyumba kuba bino biba
bya njawulo mu kuwangaala, okubala n’ebirala. Okugeza kaamulali alimirirwa mu kiyumba awanvuwa era osobola okusigala ng’omunogako okumala emyezi munaana ekitali ku wa nnimiro y’ebweru. Ekiyumba kibeera ne ttanka ng’eno y’ebeeramu amazzi omussibwa ebiriisa ebirime bye byetaaga. Bino biyisibwa m mazzi okutuuka ku birime byo buli  lw’ofukirira.
“Nze nnimira mu biveera ebiddugavu mwe nzisa ettaka erifumbiddwa ne nsimbamu endokwa ebeera emezesereddwa mu kifo eky’enjawulo. Nga tumaze okusimbuliza tutandika okufukirira emirundi ebiri buli lunaku,” Dr. Bakkabulindi bw’agammba.
Agamba nti, abantu abayingira mu kiyumba balina okuba abagere ate n’abo okuli n’abakozi balina okusooka okulinnya mu ddagala nga tebannayingira okutta obuwuka.
OKUFUMBA ETTAKA
Dr. Bakkabulindi agamba nti, bafumba ettaka lino okutta obuwuka obulwaza ebirime obutambulira mu ttaka naddala kiwotoka kuba ebika ebirimirwa
mu biyumba tebibeera na busobozi kugumira birwadde bino nga  byetaaga okuyambibwako.
“Ettaka tulifuna okuva buli wamu ne ku kasasiro, ne tuggyamu ebisaaniiko n’ebiveera. Tutabulamunnakavundira gamba ng’obusa, kalimbwe n’ebirala naddala singa babeera bakozesa eryakozesebwa olusimba oluwedde olwo ne tulifumbira wamu okukakasa nti,
buli kiritabulwamu tekiriimu buwuka buyinza kukosa birime,” Dr. Bakkabulindi bw’agamba.
Bafuna eppipa ne bagissaamu amayinja mu ntobo okutuuzibwa akatimba n’obutuli obutono ddala ne bayiwamu amazzi nga tebannassaako ttaka. Oluvannyuma ettaka liyiibwa ku katimba ne batandika okufumba okutuusa lwe liyitamu omukka gw’amazzi nga kino kisobola okutwala essaawa nga ssatu okusinziira ku nku. Oluvannyuma
liyiibwa ku ttundubaali oba ekiveera okuwola nga terinnassibwa mu biveera okusimbibwa endokwa.
NASSALE Bakkabulindi agamba nti, olw’okuba ensigo za bbeeyi, alina okukakasa nti, buli kasigo kamera. Wano alina ttule z’akozesa okumeza ensigo zino ng’akozesa ettaka
eriva mu kuvunda kw’ebintu (Humus). “Buli kannya ku tule nkassaamu ekasigo nga kino kinnyamba okumeza ensigo zange obulungi olwo ne nzikuumira mu
kiyumba okumala wiiki nga ssatu nga tezinnasimbulizibwa.
Mu kiseera kino tuba tuteekateeka
n’ettaka erigendaokussibwa mu biveera,” bw’agamba.
AMAKUNGULA
Bakkabulindi agamba nti, mu kiyumba ekya ffuuti 8 ku 30 nga mugendamu ebikolo nga 1,000, akungulamu kkiro 100 buli luvannyuma lwa wiiki bbiri nga buli kkiro leero egula wakati wa 5,000/- ne 7,000/- n’afuna wakati wa 500,000/- ne 700,000/-.
Agamba nti, akatale k’ebirime bino weekali mu bungi mu katale e Nakasero, supamaketi kw’ossa wooteeri ezimu, kyokka weetaaga okubeera n’omutindo ate n’obungi obwetaagisa ekiseera kyonna okusobola okukwata akatale kano, ate ng’osobola okukikola kuba tolina kulinda nkuba ng’osobola okusimba ekiseera kyonna n’obeera n’amakungula.

Tags: