Wabaddewo akasattiro, abatuuze b'e Buddo Kimbejja mu Kyengera Town Council, bwe bavudde mu mbeera ne baziba ekkubo, nga bawakanya okubeera mu kibululu okumala ennaku ttaano.
Bakedde kukuma muliro mu kkubo eriva e Kabinja okugenda e Kitemu nga bwe bawanika ebipande nga bawakanya eky'okubaggyako transformer yaabwe okumala ennaku .
Abaserikale ba poliisi basobodde okutuuka mu kifo ekyo ne boogerako nabo era we butuukidde mu ttuntu, nga be kikwatako batutteyo transformer ne bagissaayo embeera n'edda mu nteeko.