ABAGAMBIBWA okutigomya ab’e Kyebando, Kaleerwe, Mulago poliisi ebakutte abasuubuzi ne babawaako obujulizi

Julius Byanyima omu ku baakwatiddwa.
Okukwatibwa kwabwe kwaddiridde abasuubuzi ku nkulungo y’oku kaleerwe okubalonkoma ku poliisi y’oku Kaleerwe nga babalumiriza okuteega abantu mu ttaawo ly’e Kyebando , Kaleerwe ng’abamu beefuula abalonda ebyuma ebikadde emisana olwo ekiro ne bateega abantu .
Amos Betungura akulira poliisi y’oku Kaleerwe eyakuliddemu ekikwekweto yategeezezza nti abamu ku baakwatiddwa baayimbuddwa abalala bakyanoonyezebwako yasabye abatuuze buli omu okuba mbega wa munne kuba abantu bangi ababeera mu bitundu nga tebamanyikiddwa n’ebigendererwa byabwe eby’enjawulo .
Abamu ku baakwatiddwa kuliko; Brian Musobozi, Emmanuel Bigala, Geoffrey Male, Haruna Kabogoza, Isaac Ninamugisha, Julius Byanyima, Peter Omara n’abalala ng’abamu ku bano abasuubuzi baagambye bazze bakwatibwa poliisi ez’enjawulo mu kawempe ne bayimbulwa .