Amawulire

Amasannyalaze gakubye abaana 2 ababadde bava okulunda ne bafiirawo e Kaliro!

EKIKANGABWA kigudde e Kaliro , abaana babiri bwe bakubiddwa amasannyalaze ne gabattirawo.

Amasannyalaze gakubye abaana 2 ababadde bava okulunda ne bafiirawo e Kaliro!
By: Godfrey Kigobero, Journalists @New Vision

EKIKANGABWA kigudde e Kaliro , abaana babiri bwe bakubiddwa amasannyalaze ne gabattirawo.

Bibadde ku kyalo Takira mu ggombolola y'e Bumanya mu disitulikiti y'e Kaliro , abaana babiri abeekyalo kye kimu, bwe bakubiddwa amasannyalaze agagambibwa okuba amabbirire ne gabatta.

Babadde bava kulunda nsolo nga bakomawo awaka, kwe kulinnya ku waya y'amasannyalaze ku muliraano ne gabakuba.

Omwogezi wa poliisi mu Busoga North, Samson Lubega, ategeezezza nti nnyini kifo amasannyalaze we gakubidde abaana, bamukutte, ayambeko mu kubuuliriza.

Tags:
Kaliro
Masannyalaze
Baana
Kukuba