DISITULIKITI y'e Kiruhura esinze disitulikiti endala mu ggwanga mu mpeereza y'empeereza y'emirimu.
Yawangulidde ku bubonero 95.25 ku 100 nga yaddiriddwa disitulikiti y'e Isingiro ku bubonero 94.72 ku 100, Ibanda yakutte kyakusatu mu 94.6 ku 100 n’endala ne zigoberera.
Mukago Rutetebya ssentebe wa disitulikiti y'e Kiruhura yagambye obuwanguzi bwe bwavudde mu butatuula mu ofiisi ng’ebiseera ebisinga abimala ku kulondoola nteekateeka za gavumenti mu kitundu kye.
Raphael Magyezi Minisita wa gavumenti ez’ebitundu bwe yabadde akwasa abawangunzi ebirabo yakuutidde bassentebe ba disitulikiti zonna okulaba nga bongera okulondoola empeereza za gavumenti mu bitundu omuli okukola enguudo n’entido, eby’enjigriza, eby’obulamu n’embera z’abantu zonna okutwalira wamu n’ebirala.

Bino byabadde mu kuggalawo olukung'aana lwa bonna olw'omulundi ogusooka Joint Regional Development Programme Annual Review (JRDPAR) okutunula mw’ebyo ebizze bikolebwa mu nteekateeka za gavumenti eri ebitundu mu bbanga ery’emyaka etaano egiyise okuzuula oba bituukiridde okusinziira ku kyali kisuubirwa.
Omulamwa gw’olukung'ana lubo ogwabadde “Okunnyikiza obukulembeze bw’ebitundu okulongoosa empeereza eri abantu” mulimu okuteekawo enkulaakulana n’empeereza ey’ekyenkanyi mu buli kitundu kya ggwanga.
Minisita Magyezi yalangiridde nga bakasansala bonna abanaaba bayiseemu mu kulonda kwa 2026 bagenda kutendekebwa mu nkola ery’obuwaze ku buvunaanyibwa bwabwe eri abantu be bakiikirira.