Amawulire

Eggulu likubye abayizi b'essomero 6, omu n'afiirawo!

Omwana omu afiiriddewo n'abalala bataano ne baweebwa ebitanda mu ddwaliro , oluvannyuma lw'eggulu okubakuba e Buliisa.

Eggulu likubye abayizi b'essomero 6, omu n'afiirawo!
By: Godfrey Kigobero, Journalists @New Vision

Omwana omu afiiriddewo n'abalala bataano ne baweebwa ebitanda mu ddwaliro , oluvannyuma lw'eggulu okubakuba e Buliisa.

Bibadde ku kyalo Sonsio mu muluka gw'e Walukuba mu disitulikiti y'e Buliisa, eggulu bwe likubye abayizi b'essomero lya St. Augustine Nursery and P/S Mukaaga, omu n'afa.

Afudde ye Desmond Rwothomio 7 ate abalala okuli Gladys Ayomirwoth, Tashi Ayiorwoth, Sarah Ayiorwoth, Gift Afoyorwoth n'omulala atannamanyika mannya ne balumizibwa.

Omwogezi wa Albertine Julius Allan Hakiza, agambye nti abalala abana, basiibuddwa ne wasigalayo omu akyali mu kufuna obujanjabi. 

Agasseeko nti omulambo guweereddwa abengan

Tags:
Amawulire
Ggulu
Kukuba
Masomero
Ssomero