Lyabadde ssannyu jjereere ku kitebe kya Vision Group, mu Industrial area nga bannamukisa 40 abaawangula mu Gabula Ssekukkulu Olusaniya wa Bukedde bakwasibwa ettu lyabwe.
Richard Kasumba Munnamasaka Ng'essanyu Limutta Olw'okufuna Ebintu
Ku Lwokutaano nga 22 December 2023, enkoko baagikutte mumwa era bangi bazze n’abaabawerekeddeko okubasitulirako ebitereke ebyabadde ebizito ddala.
Buli muntu afunye ettu omwabadde amata ga Royal Milk liita bbiri, enkoko ya Ugachick kkiro bbiri, enkota y’ettooke obwaguuga, omuceere gwa SWT kkiro bbiri, Soda, ssukaali, amajaani, siyaagi wa Prestige n’ebirala bingi era bonna baavuddewo bazitoye.
Aba Royal Milk Nga Bakwasa Omukung'aanya Ow'oku ntikko Barbara Kaija Amata Ga Royal Milk (abawanguzi Nabo Ge Baafunyeeko) Wakati Ye Akim Ssebanaakitta Ne Sudaisi Kirunda Aba Royal Milk.
Abaafunye ebintu nga bakulembeddwa Josephine Birungi, baasiimye Bukedde olw’okubawa essanyu lya ssekukkulu era ne bagisiima olw’omutima gwayo omugabi.
Gabula Ssekukkulu w’omwaka guno abadde awagiddwa aba Ugachick Poultry breeders, omuceere gwa SWT, n’amata ga Royal milk amawoomu okuzaama.
Omu Kubawanguzi Ng'atwala Ebintu Ku Bodaboda.
James Kiwalabye, akulira bakitunzi ba Ugachick, alaze essanyu olw’okwegatta ku Bukedde ne bawa abantu essanyu lya ssekukkulu bw’atyo n’akubiriza abantu okwettanira enkoko ya Ugachick eyeesigika.
Sudaisi Kirunda kitunzi wa Royal Milk, ayogedde ku bulungi bwa mata ga Royal Milk n’akubiriza abantu okuganywa era ne yeeyama nti baakwongera okukwatagana ne Bukedde eyeesigika.
Emmere Ng'etikkulwa Ku Mmotoka.
Omukung’aanya wa Bukedde, Michael Mukasa Ssebbowa, yeebazizza abavujjirizi olw’okuwagira enteekateeka eno nasaba abantu babawagire kubanga akuwa naawe gw’owa.
Ssebbowa asiimye abantu enkumi n’enkumi abeetabye mu kazannyo kano era n’ayozaayoza abawanguzi kyokka abataawangudde n’abawa amagezi beekumire ku Bukedde kubanga ebintu ebirungi bingi bikyajja.
Okuva Ku Ddyo , James Kiwalabye Ne Tonny Kiyemba Owa Ugachick Nga Bakwasa Omu Ku Bawanguzu Ebintu Ebintu