Omuyimbi Eddy Kenzo yajaguzza amazaalibwa ge ku Kulisimaasi wakati mu kukuba abawagizibe abaagenze mu bungi okumuwagira mu kivvulu ku Colline Hotel e Mukono.
Kenzo yalinnye ku siteegi ku ssaawa mukaaga n’eddakiika abiri mu bbiri n’abakubi b’ebivuga n’ayimba ennyimba ze lumu ku lumu ng’alinga ali ku lonki. Ono yaafundikidde ku ssaawa munaana n’abawagizibe okumuyimbira oluyimba lw’amazaalibwa n’okusala keeki.

Kenzo ng'ayimba ku Colline Hotel e Mukono ku kulisimaasi.
Abawagizi abamu naddala abavubuka baazinye amazina okubula okubaggwa mu biwato kuba okuva Kenzo lwe yalinnye ku siteegi okutuusa lwe yaasiibudde nga tebatuddeeko wansi.
Kenzo yaddiridde emmunyeeye ya kadongokamu, Lord Fred Ssebatta ng’ono abawaagizi baamwanirizza nga muzira. Ssebatta naye yatambudde n’abakubi be ab’ebivuga abaakulembeddwa Prof. Ssensuwa nga yalinnye ku siteegi n’oluyimba lwe olwa Nnalwewuuba.

Ssebatta ne Maama Kiine ng'ayimba.
Ono yeebazizza Katonda amussuusizza obulwadde obumulumidde emyaka esatu nga n’eby’okuyimba kumpi abadde yabiwummula.
“Munneebaalizeeko abakubi b’ebivuga bano, emyaka esatu miramba nga ndi mulwadde babadde tebakola naye okulaba nga nkomyewo oluvannyuma lw’ebbanga eryo nga bakyakuba nga bwe baali edda, ekyo kya maanyi era tukyebalize Katonda. Ssebatta era yabadde ne Maama Kiine, ayimba n’okuzannya katemba.
Ng’eyali enkola ye era eya ba Katondo kamu okusooka okuzaannya obuzannyo obumbi obwanjula ennyimba, ne ku mulundi guno Ssebatta yabadde akikola olwo abawaagizi n’abaleka nga beenuguuna.

Prof. Ssensuwa ng'akuba endongo nga Ssebatta bw'ayimba.