ABASUUBUZI ababadde batandise okweyiwa ku nguudo okutunda ebya Ssekukkulu bakiguddeko abaserikale ba KCCA bwe baboye ebintu byabwe n’okubaako be bakwata.
Bino byabaddewo ku Lwokubiri, abamu ku basuubuzi bwe baayiye emmaali yaabwe ku mbalaza okutandika okutunda ebintu bya Ssekukkulu omwabadde obuti bwa kulisimaasi, eby’okutimba, engoye, wabula abaserikale ba KCCA ne babibabowa ne babitwala.
Baabadde babiyiye ku luguudo lw’omu Kikuubo, Nakivubo Road, ku lubalaza lwa
Mukwano Arcade, Luwum Street ne Ben Kiwanuka n’abalala nga bali mu ppaaka
za ttakisi.
David Ojur, eyakuliddemu abaserikale ba KCCA nga bawerekerwako poliisi ekkakkanya obujagalalo yagambye nti, abasuubuzi abamu babadde batandise okweyiwa ku nguudo ne batandika okutunda ebintu omuli; engoye, engatto naddala ebya Ssekukkulu so nga tebakkirizibwa.
Yagambye nti, bonna abaagala okutunda ebintu basigaleyo mu butale n’amaduuka kuba abanaalemera ku nguudo baakukwatibwa n’okubowa ebintu byabwe kuba kimenya mateeka.
Yategeezezza nti mu kikwekweto kino waliwo abaabadde batundira ku nguudo ne badduka n’ebintu byabwe ne babiyingiza ebizimbe, wabula eno nayo baayingiddeyo ne babikukunulayo ne babitwala