Amawulire

Alimpa eyayimba ‘Lusuku lwa Sseminti’ poliisi emukutte

OMUYIMBI Ronald Alimpa eyayimba ‘Lusuku lwa sseminti’ akwatiddwa ku kiragiro kya kkooti n’atwalibwa ku poliisi e Rakai.

Alimpa nga bamutwala
By: Bukedde Omusunsuzi, Journalists @NewVision

OMUYIMBI Ronald Alimpa eyayimba ‘Lusuku lwa sseminti’ akwatiddwa ku kiragiro kya kkooti n’atwalibwa ku poliisi e Rakai.
Kino kiddiridde omuvubuka ayitibwa Ivan Mbaine okumutwalira poliisi ng’ono amulanga okumupangisa n’amusasula ssente obukadde busatu okuyimba mu kivvulu kye yali ategese mu kisaawe ky’e Kakyera mu Rakai ku lunaku lwa Kulisimaasi, wabula n’atalabikako.
Mu kivvulu kino abadigize baali basasudde 10,000/- okuyingira era nga Alimpa y’omu ku bayimbi ab’amaanyi gwe baali balindiridde okubasanyusa. Bw’ataalabikako ekyaddako kyali ky’abadigize okwonoona ebintu omwali; emizindaalo, obutebe n’ebintu ebirala era byonna ebyayonoonebwa bibalirirwamu obukadde 180.
Alimpa okumukwata, poliisi okuva e Katwe ng’ekulembeddwa John Kwesiga yamusanze mu maka ge ku luguudo lw’e Salaama mu Zikusooka zooni mu munisipaali y’e Makindye. Poliisi yamuzinzeeko ku ssaawa 7: 00 ez’omu ttuntu nga mu nnyumba yabaddemu me mukazi we.
Baamulaze ekiwandiiko ekyavudde mu kkooti y’e Rakai era n’akkiriza nti ensonga azimanyiiko.
Alimpa mu kiseera kino akyatambulira mu kagaali oluvannyuma lw’okufuna akabenje bwe yali agenda mu kivvulu ekimu mu bitundu by’e Ssemuto, mu October w’omwaka oguwedde era ng’akabenje kano mwafiiramu n’omuyimbi Lady Grace eyayimba ‘Layira’. Alimpa nga bw’atiiriisa amaziga yeegayiridde amuvunaana obutamutwala mu kkooti, wabula n’alemerako era n’atwalibwa ku poliisi y’e Katwe, gye yaggyiddwa n’atwalibwa e Rakai.

Tags: