Binnyonkondo Muwonge aguze ebizimbe bya Mukwano obuwumbi 95

BINNYONKONDO wa Kampala, John Bosco Muwonge ayongedde okugaziwa n’okulaga amaanyi bw’aguze ekizimbe kya Mukwano Centre Shopping Arcade okumpi ne ppaaka ya takisi enkadde ku nsimbi ezikunukkiriza mu obuwumbi 100.

Ekizimbe kya Mukwano Arcade ekyaguliddwa Muwonge ate mu katono ye mugagga Muwonge Jhnbosco
By Bukedde Omusunsuzi
Journalists @NewVision

BINNYONKONDO wa Kampala, John Bosco Muwonge ayongedde okugaziwa n’okulaga amaanyi bw’aguze ekizimbe kya Mukwano Centre Shopping Arcade okumpi ne ppaaka ya takisi enkadde ku nsimbi ezikunukkiriza mu obuwumbi 100.
Ekizimbe kino ekitudde ku yiika 3 wakati mu kibuga, akisasudde omukono gumu ensimbi obuwumbi 95 ekirese bagagga banne nga bumunyeenyeza mutwe. Kyokka abamanyi obulungi ebbeeyi y’ettaka n’ebizimbe bagamba nti ssente z’ayogera ntono ku ze yasasudde nti ziyinza n’okukubisaamu emirundi ebiri.
Abamanyi Bosco Muwonge, okufaanana n’abagagga b’e Masaka abasinga obungi, tayagala kweraga era emirundi mingi alaga nti ali bubi era amabanja ga bbanka gamuli mu bulago ne kitegeeza nti ekituufu ku ssente zino kiri wakati we ne be yakiguzeeko.
Obuguzi bwasonjoddwa ku Lwokusatu nga July 2, 2025. Ebyapa byavudde mu mannya ga kkampuni ya Mukwano Entreprises Ltd ebadde ekiddukanya ne bidda mu mannya ga kkampuni ya Boost Investments Ltd eya Muwonge. Obugazi bwa Muwonge buwadde essuubi abamu ku basuubuzi abatandika empola okukola. Ono yatandika okusuubula mu myaka gy’ensanvu era obulamu bwe bwonna musuubuzi. Yatandikira ku kuvuga mmwaanyi ku kagaali mu byalo ebiriraanye Nyendo okumala emyaka.
Bwe yafuna ku busente yakyusa omulimu n’ayingira okusuubula engoye n’ebintu ebyenjawulo okuva e Kampala ng’abitundira Masaka oluvannyuma yayingira Kampala mu buduuka obutono ku Cooper Complex era banne be yaleka e Masaka , baatandika okumutuma emmaali nga bw’agibasindikira oluvannyuma n’agaziwa ye n’atandika okubasuubuza. Y’omu ku basuubuzi mu myaka gya 1990 abaasooka okulinnya ennyonyi okusuubula ebweru w’eggwanga.
Banne be yaleka e Masaka yabaggyayo. Ku bano kwaliko muganda we, John Ssebalamu ne mwannyina Christine Nabukeera. Bonna baayingira amaduuka ne basuubula engoye nga bw’abayambako era Ssebalamu yagaggawala ne mwannyina Nabukeera naye mugagga.Ekiseera kino bannakampala bamwogerako nga nnagagga asinga ettaka eddene mu kibuga nga erimu liriko ebizimbe ate eddala tekuli.
ABASUUBUZI
Kkampuni ya Mukwano Entreprises Ltd ebadde ekiddukanya yawandiikidde abasuubuzi ku Lwokuna , n’ebategeeza mu butongole nti ekizimbe kyaguliddwa Muwonge naye tebatya nti akiguze musajja mulungi kuba y’omu ku basinga ebizimbe ebingi mu Kampala ate awuliriza n’abapangisa be tewali kigenda kukyuka.
Ekiwandiiko kyabaddeko omukono gw’akulira kkampuni ya Mukwano Enterprises Ltd era ebbaluwa yalaze abasuubuzi nti okutandika ne ku Lwokuna lwe baagifunye, aba kkampuni ya Boost be bakiddukanya era ebyokusolooza ssente z’obupangisa be babivunaanyizibwako.
Kyokka abasuubuzi olwalabye ebbaluwane beekengera nti wadde bakakasiddwa nti Muwonge musajja mulungi naye enkola ya Mukwano nti ebadde ya njawulo naddala bwe kituuka ku ntegeeragana ne bannannyini maduuka abakadde.
“Tusaba ssente z’obupangisa obutakyuka ate tusigaze obwannannyini bw’amaduuka gaffe ” Muhammad Kasamba bwe yagambye.
Ate ssentebe w’ekibiina kya Uganda National Traders Alliance (UNATA), Godfrey Katongole, yawabudde obukulembeze bwa Boost obuteeyambisa bubi obuyinza obwaweebwa balandiroodi mu tteeka erirung’amya enkolagana yaabwe n’abapangisa naddala akawaayiro akabawa obuyinza okwongeza ebitundu 10 eza ssente z’obupangisa buli mwaka n’okuwa abapangisa baabwe ennaku 90 okubaviira mu maduuka gaabwe ng’agamba nti kino kyandireetawo obutali butebenkevu mu kifo kino kye basanze nga kikkakkamu.
Omu ku bakola ku bya ssente mu kkampuni ya Boost Investments Ltd eyasabye amannya gasirikirwe yagambye nti aba Mukwano baabaguzizza ekizimbe olwokuba mukwano gwabwe era bamaze ebbanga nga bakolagana bulungi naye (Muwonge) ate bamumanyi nga omuntu. “Abasuubuzi bakole emirimu gyabwe nga bwe basasula ssente z’obupangisa era tebagenda kugobwa,” bwe yagambye.
“Ffe tetutulugunya bapangisa era abali mu Mukwano babuuze ku bannaabwe abalala abakolera mu bizimbe byaffe ebirala “ ow’ebyassente bwe yagambye. Yagambye nti obuguzi buno bwasanyusizza Muzeeyi Muwonge okusinga ebirala byonna.
“Muzeeyi bwe yabadde ayogera yassizza ekikkowe nti yeeyongedde okusajjakula okusobola okugula yiika z’ettaka ssatu ekiseera kino ezikubyeko amaduuka wakati mu kibuga; “Ebirooto byange byongedde okutuukirira era ndi musanyufu” bwe yagambye. Yalaze nti ye bw’agula ekifo kikyuka era awo wagenda kufuuka wa njawulo nnyo.
Nti ekizimbe kiriko buli kimu era abakolerawo kati bagenda kweyagala bagume. Abamanyi ebya ssente ezigula ebizimbe mu kibuga bategeezezza nti Muwonge amenye likodi ku bagagga abalala. “Tewali yali aguze kizimbe buwumbi obwo. Abazimba ku ttaka eddene erisoba mu yiika ssatu mu kibuga bangi balifuna mu Gavumenti naye ono aguze mu buliwo,” bwe baamutenze.