Bbanka etwala ebizimbe bya muganda wa Ham lwa bbanja lya buwumbi 10

OMUGAGGA Haruna Ssentongo, nnannyini akeedi n’ebizimbe ggaggadde mu Kampala, ali mu kattu oluvannyuma lwa bbanka okumutwalako ebizimbe 3 lwa bbanja lyayo lya buwumbi 10 ze yeewola okubizimba.

Bbanka etwala ebizimbe bya muganda wa Ham lwa bbanja lya buwumbi 10
By Margaret Zalwango
Journalists @New Vision
#Amawulire #Bbanja #Bbanka #Kizimbe #Ham

OMUGAGGA Haruna Ssentongo, nnannyini akeedi n’ebizimbe ggaggadde mu Kampala, ali mu kattu oluvannyuma lwa bbanka okumutwalako ebizimbe 3 lwa bbanja lyayo lya buwumbi 10 ze yeewola okubizimba.

Ssentongo Bw'afaanana.

Ssentongo Bw'afaanana.

Haruna Ssentongo nga ye muto wa Hamis Kiggundu amannyiddwa nga Ham, kkooti emulagidde asasule bbanka ya I&M ssente obuwumbi 10 ng’entabwe evudde ku musango gwe yatwala mu kkooti ejulirwamu okumumegga.

Omugagga Ssentongo okuddukira mu kkooti ejulirirwa, kyaddirira mu kkooti enkulu etaawulula enkaayana z’ebyobusuubuzi gye yawawaaba omusango mu 2019 ng’ayagala bbanka eno mu kiseera ekyo eyali Orient Bank emusasule obuwumbi 10 n’obukadde 400 ng’agirumiriza okumenya endagaano gye bakkiriziganyaako bwe yali abeewolako.

Ssentongo era yasaba kkooti eyimirize bbanka okutwala ettaka lye erisangibwa mu Kisenyi ku Kibuga Block 12 plots 250,251 ne 252 ate bamusasulireko n’amagoba n’okutaataaganyizibwa kwonna kw’ayiseemu olw’omusango ogwo.

Ekizimbe Ekimanyiddwa Nga Nakayiza Ekiri Mu Kisenyi

Ekizimbe Ekimanyiddwa Nga Nakayiza Ekiri Mu Kisenyi

Banka mu kwewozaako yategeeza nti Ssentongo aludde ng’abeewolako ssente n’atasasula era nga banjibwa omusimbi muyitirivu oguliko n’amagoba.

Nga January 22, 2019 bbanka nayo yatwala Ssentongo mu kkooti agisasule ssente eziri mu buwumbi 10 n’obukadde 397 era ffayiro zino kkooti yazigatta ne ziwulira wamu n’ewa ensala mu 2022 ng’eragira Ssentongo asasule banka ssente zaayo ate asseemu n’amagoba ga bukadde 150. Ssentongo teyamatira n’addukira mu kkooti ejulirwamu okumutaasa ku banka.

Kyokka abalamuzi ba kkooti ejulirwamu; Cheborion Barishaki, Christopher Gashirabake ne Monica Mugenyi bwe baabadde bagoba okusaba kwa Ssentongo baagambye nti kkooti enkulu terina nsobi gye yakola mu nsala yaayo ng’ate Ssentongo yateekebwako n’amagoba amasaamusaamu okusasula banka.

 

Abalamuzi era baagambye nti kkooti bwe ziba zigaba amagoba mu musango zirina okutunuulira embeera y’ebyenfuna mu ggwanga n’amaanyi ga ssente bwe gayimiridde nga beekenneenya embeera bw’esuubira okubeera okwewala oyo asabye okusasula obutafiirizibwa kisukiridde singa wabaawo ekyukakyuka mu maanyi ga ssente naddala ng’amaanyi gaayo gaserebye.

Abalamuzi era bakkaatirizza nti beekenneenyezza obujulizi obuli mu kkooti ne bazuula nti temuli nsobi yonna yakolebwa kkooti esookerwako bwe yazuula nga Ssentongo teyalina ggumba mu nsonga ze bwe kutyo okujulira kwe ne kugobwa.

Ono yalagirwa asasule banka ssente zonna ze bamubanja 10,384,396,959/- asseeko amagoba ga bitundu 12 Ku 100 buli mwaka okuva nga January 22, 2019, banka lwe yawaaba n’ebitundu 6 ku 100 ng’amagoba ku bukadde 150 ez’ebisago ze balina okusasula banka.