BBANKA etutte emmaali y’omugenzi Bulaim Muwanga Kibirige ‘BMK’ e Buziga lwa
bbanja lya buwumbi 10.
Emmaali eyatwaliddwa mulimu ebizimbe nga bina ebya kalina ez’emyaaliro 6 ez’amayumba ag’ebbeeyi agapangisibwa eza ‘Africana Hotel Apartments’, ezisangibwa ku Block 273 Plot 46 ku Mulambula Road mu zzooniya Buziga Hill View mu munisipaali ya Makindye mu Kampala.
African Hotel Apartments zitwaliddwa bbanka eyitibwa YAKO Bank eyawaaba ng’eyagala aba BMK baamuke ekifo lwa kulemwa okusasula obuwumbi 10 ezigambibwa okwewolebwa aba Ffamire ya BMK mu bbanka eyo.
Ssente kigambibwa nti zewolwa mutabani ba BMK Haruna Kalule Muwanga n’asinga ekyapa ky’ettaka nga kiri mu mannya g’omugenzi BMK kyokka aba ffamire bagamba nti Kalule yajingirira omukono gw’omugenzi ’ekyapa mu biwandiiko bye
yatwala okufuna ssente.
Ali Kibirige Muwanga omusika wa BMK abadde alwana okulaba ng’emmaali ya kitaabwe tetwalibwa kyokka kkooti ejulirwamu yagobye okusaba kwe n’ekkiriza
bbanka okubitwala.
BMK
Mutabani we Ali Muwanga Kibirige yeyamusikira era y’avunaaninyizibwa ku bintu
by’omugenzi ku lwa banne. Kibirige yaddukira mu kkooti ng’awaabira Haruna
Kalule Muwanga, YAKKO bank ne kamisona avunaanyizibwa ku kuwandiisa ettaka ng’agamba okukyusa ekyapa ky’ettaka eryo n’okweddiza ebintu bya BMK byakolebwa mu ngeri ya kifere era emenya amateeka n’asaba kkooti ebisazeemu emmaali eyo.
Muwanga yabadde awolerezebwa munnamateeka Adam Kirumira.
Omwogezi wa ffamire ya BMK, Hajji Isaac Ngobya yagambye yategeddeko nti aba bbanka baatadde ebiwandiiko ku nnyumba za BMK e Buziga kyokka
ensonga bannamateeka baabwe bazitambuza kubanga kyakakasibwa bulungi nti Haruna Kalule yajingirira omukono gw’omugenzi.
Ngobya yagambye nti amabanja ga BMK bagamanyi era temuli ga YAKO bank na ba Equity Bank nga baakolagana n’omwana okutwala ebintu by’omugenzi kyokka tebajja kukkiriza bintu bya ngeri eyo.