BayozaayozezzaPaapa Leo XIV

10th May 2025

NG’ABANTU mu nsi yonna bakyagenda mu maaso n’okusanyuka olw’amawulire g’okulondebwa kwa Paapa Leo XIV, abakulembeze mu nzikiriza ez’enjawulo mu Uganda bawadde obubaka obumuyozayoza.

Ssaabasumba Paul Ssemogerere (wakati) ng’akulembeddemu mmisa y’okwebaza Katonda okufuna Paapa omuggya mu Lutikko e Lubaga ku Lwokutaano. Yabadde ayambibwako Abasaserdooti abalala.
NewVision Reporter
@NewVision
17 views

NG’ABANTU mu nsi yonna bakyagenda mu maaso n’okusanyuka olw’amawulire g’okulondebwa kwa Paapa Leo XIV, abakulembeze mu nzikiriza ez’enjawulo mu Uganda bawadde obubaka obumuyozayoza.
Ssaabasumba w’Essaza ekkulu erya Kampala Paul Ssemogerere, yakulisizza Eklezia mu nsi yonna naddala wano mu Uganda olw’ekirabo kya Paapa Leo XIV.
Yakubirizza Bannaddiini n’Abakristu mu bigo byonna okumusabira, okumuwulira era n’abasaba okutwala obubaka bwe yatandise nabwo ng’ayogerako eri ensi nga yaakalondebwa obwa ‘’Emirembe gibeere ku mmwe ‘’ ng’obukulu, balwanirire emirembe mu nsi yonna nga batandikira mu maka gaabwe.
Msgr. Wynard Katende ow’ekyoto e Namugongo : Eklezia ebadde emaze ebbanga ng’endiga teziriiko Musumba okuva Paapa Francis lwe yatuva ku maaso.
Tukimanyi bulungi nti, Paapa ye Katikkiro w’Eklezia mu nsi yonna era omuntu asinga okusemberera Yezu. Tumusabire Omukama amubeere mu buweereza bwe era okubeera kwe ku mwanjo ne Paapa Francis mu buweereza tumulinamu essuubi nti, ajja kusobola okutambulira mu bigere bye.
Anthony Mateega, omumyuka wa Ssaabakristu wa Uganda : Paapa Leo alondeddwa okuva mu ggwanga ly’America gye tumanyi ng’ensi kirimaanyi naye nsaba abantu baleme okumulabira mu mbeera eyo kubanga Paapa Mwoyo Mutuukirivu y’amulonda era y’amulambika.
Emily Kitto Mwaka Ssaabakristu w’Essaza lya Kampala : Klezia teboola era tekulembeza kwagala kwayo, abantu babadde balina essuubi mu Bakalidinaali eb’enjawulo kyokka tukimanyi nti, mu Eklezia Katonda y’alonda.
Mu bubaka bwe obwasoose yakkaatiriza enkola ey’okutambulira awamu (Synodality) emu ebadde empagi ya Paapa Francis gwaddidde mu bigere.
Dr. Muhammad Kiggundu Musoke, omwogezi wa ofiisi ya Supreme Mufti e Kibuli :
Tuyozaayoza Abakatoliki mu nsi yonna olw’okufuna Paapa Leo XIV, eyeewaddeyo okuweereza ensi. Abakulembeze nga Paapa babeera babaka ba Katonda tumusabira Omukama amuwe omukisa okukulembera obulungi abantu mu nsi yonna ng’atambulira ku mukululo gwa Paapa Francisgwe yaleka ogw’okutakabanira emirembe n’okulumirirwa abantu baabulijjo.
Amb. Bernadete Olwo, omuserikale wa Paapa omukazi eyasookera ddala : Twebaza Katonda olw’okutuwa Paapa Leo XIV, tumulinamu essuubi ddene era tusaba Katonda amukozese eby’ekisa asobole okutukulembera obulungi ate ng’atambulira mu bigere bya Paapa Francis eyali Paapa w’abantu bonna naddala abanaku.
Eyali Omulabirizi wa West Buganda Bp. Henry Katumba Tamale :
Twebaza Katonda otuwadde Paapa Leo XIV okubeera omusika wa Paapa Francis, tumusabira Omukama amuwanirire era nsaba abantu bonna okumussaamu ekitiibwa, okuwummulira n’okumusabira nga bajjukira nti, tewali bukulembeze butava eri Katonda.
Katikkiro wa Uganda Robinah Nabanja asanyukidde okulondebwa kwa Paapa Leo XIV ow’e 267 n’amusaba okwongera okugatta n’okunyweza obukatoliki mu mitima gy’abantu ssaako okunnyikiza emirembe mu nsi zonna.
Omubaka Richard Ssebamala (Bukoto Central) yatenderezza enteekateeka y’onna n’asaba nti, okulondebwa kwe kwongera okunnyikiza emirembe mu nsi yonna.
Pulezidenti wa NUP Robert Kyagulanyi Ssentamu yayozaayozezza Paapa okulondebwa n’Obukatoliki bwonna okufuna omukulembeze omuggya mu kiseera kino ng’ensi nnyingi zirimu okusoomoozebwa kwa demokulaase n’entalo n’asaba ayongere okukolerera emirembe.
Omubaka Gorret Namugga
(Mawogola South) yasanyukidde Paapa omuggya n’ategeeza nti, Klezia eyimiriddeko abantu n’ebintu bingi era akimanyi nti, Paapa agenda kwongera okunnyikiza eddiini mu mitima gy’abantu n’okukolerera emirembe n’okwegatta.

Help us improve! We're always striving to create great content. Share your thoughts on this article and rate it below.