Bawabudde ku kuwandiisa bizinensi

Apr 23, 2024

EKITONGOLE kya gavumenti ekivunaanyizibwa ku kuwandiisa amakampuni, ebitongole n’ebiyiiye mu ggwanga ekya Uganda Registration Service Bureau (URSB) kiwabudde Bannayuganda abatandika n’okuyingira bizinensi bafube okulaba nga batuukiriza ebisaanyizo ebisookerwako naddala okwewandiisa nakyo kibayambe okuganyulwa pulogulaamu za gavumenti.

Zeuse Kizza (ku kkono) ne Diana Kibuuka mu lukung’aana.

Munamawulire
Munamawulire @Bukedde

EKITONGOLE kya gavumenti ekivunaanyizibwa ku kuwandiisa amakampuni, ebitongole n’ebiyiiye mu ggwanga ekya Uganda Registration Service Bureau (URSB) kiwabudde Bannayuganda abatandika n’okuyingira bizinensi bafube okulaba nga batuukiriza ebisaanyizo ebisookerwako naddala okwewandiisa nakyo kibayambe okuganyulwa pulogulaamu za gavumenti.
Zeuse Kizza, omukungu okuva mu URSB, yategeezezza nti emiganyulwo mingi egiri mu kuwandiisa bizinensi okugeza; kisobozesa nnannyini bizinensi okukwatagana n’abalala abali mu bizinensi, okufuna obwannannyini ku mannya gaabwe, okusobola okufuna kontulakita mu bitongole bya gavumenti okwo gattako okusobola okwewala okucupulwa kw’ebintu bye bakola bwatyo n’abakubiriza okwewandiisa. Bino yabyogedde mu lukung’aana lwa bannamawulire mwe baayanjulidde omukago gwe baakoze n’ekitongole
ky’obwannakyewa ekikwanaganya bannabizinensi ekya Business Network International mwe bategekedde omwoleso gw’abantu abali mu ez’awansi gwe batuumye BNI Expo 2024 nga gwakubaawo okuva nga May 31 okutuuka June 1 e Lugogo. Akulira BNI, mu Uganda, Diana Kibuuka Ninsiima, yannyonnyodde nti bizinensi nnyingi zisaanawo nga zaakatandika butandisi ne kifiiriza gavumenti n’abazitandika

Help us improve! We're always striving to create great content. Share your thoughts on this article and rate it below.

Comments

No Comment

More News

More News

(adsbygoogle = window.adsbygoogle || []).push({});