Basunsudde 12 mu kifo kya Kisaka eyali akulira KCCA

AKAKIIKO akagaba emirimu gya gavumenti kasunsudde abantu 12 okuvuganya ku kifo ky'akulira KCCA ekibaddemu Dorothy Kisaka Pulezidenti gwe yagobye n'omumyuka ye Ying. David Luyimbaazi Ssali. 

Basunsudde 12 mu kifo kya Kisaka eyali akulira KCCA
By Musasi Bukedde
Journalists @New Vision
#KCCA #Dorothy Kisaka #Basunsudde

AKAKIIKO akagaba emirimu gya gavumenti kasunsudde abantu 12 okuvuganya ku kifo ky'akulira KCCA ekibaddemu Dorothy Kisaka Pulezidenti gwe yagobye n'omumyuka ye Ying. David Luyimbaazi Ssali. 

Ekifo ky'omumyuka w'akulira KCCA ekibaddemu Ying. Luyimbaazi kiriko abantu 19 abakivuganyaako.

Kisaka, Luyimbaazi Ne Okello lwe baali Mu Kkooti E Kasangati.

Kisaka, Luyimbaazi Ne Okello lwe baali Mu Kkooti E Kasangati.

Abasunsuddwa okudda mu bigere bya Kisaka kuliko : Sydney Asubo, Richard Gabriel Atama, Sharifah Buzeki Godfrey Kaima, Moses Benon Kigenyi, Kinga Swizin Mugyema, Godfrey Kisekka Bwebukya, Rogers Matte, Emmy Ekuku Olaboro, Grandfield Omonda Oryono, Ronald Ssekabembe Kiberu ne Tegyeza Joses Kachetero.

Abavuganya ku kifo ekibaddemu Luyimbaazi kuliko: Jimmy Makmot Adwek, Basil Ajer Sydney Asubo, Paul Batanda, Richard Irumba, Benon Mwebaze Kajuna, Kaluhanga Bernadette Nambi ne Christopher Daniel Kawesi.

Mu balala kuliko Benon Moses Kigenyi,Charles Lwanga Kizza, Kinga Swizin Mugyema, Kisekka Godfrey Bwebukya, Hariet Mudondo, Juma Nyende Menhya, Vincent Okurut, Emmy Ejuku Olaboro, Paul Omoko, Onyono Grandfield Omonda, Joses Kachetero Tegyeza.

Bano okusunsulwa kiddiridde Pulezidenti okulagira akakiiko akagaba emirimu nti, mu bbanga lya myezi esatu babe nga bamaze okufuna abakugu abasobola okujjuza ebifo bino. Ebifo bisatu bye byaggyibwaamu abakungu mu KCCA okuli; ekya ddayirekita wa Kampala ekyalimu Dorothy Kisaka, omumyuka we Yinginiya David Luyimbaazi Ssali n’akulira ebyobulamu ekyalimu Daniel Okello.

Bano baagobwa Pulezidenti Museveni era n’alagira ebifo byabwe birangibwe bissibwemu abakugu batandike okukola mu bbanga lya myezi esatu gyokka. Akakiiko akagaba emirimu kaalanga ebifo bino gye buvuddeko era bangi ne bateekayo okusaba kwabwe.

Ekiseera kino ekifo ekyalimu eyali ddayirekita Dorothy Kisaka kyassibwaamu akola nga dayirekita kati, Frank Rusa Nyakaana, ate eky’omumyuka kyassibwamu Robert Nowera n’akulira ebyobulamu Zalwango.