ABASUUBUZI b’e Nakasero, KCCA be yaguza akatale bakakulaakulanye n’ekabaggyako bagikubye mu kkooti ne basaba omulamuzi alagire kabaddire ate nga baliyiriddwa.
Bamaze emyaka etaano nga bagobeddwa mu katale era bwe baali bakafuluma, waaliwo olutalo. Abaserikale ba KCCA baalumba ofiisi z’abasuubuzi abeegattira mu kkampuni ya Nakasero Market Sitting Vendors and Traders Association okwali ne SACCO yaabwe mwe batereka ssente n’ebiwandiiko nga ebyapa ne kaadi za mmotoka buli kimu ne bakitwala.
Eggulo, abasuubuzi bano beeyiye ku kkooti ya Twed mu maaso g’omulamuzi Samuel Kagoda nga bakulembeddwa munnamateeka waabwe Jude Mbabaali owa Mbabali and Co. Advocates.
Omulamuzi Kagoda yategeezezza oludda oluwaabi nti, lusseeyo ebiwandiiko byonna ebirimu obujulizi n’ababawaabirwa nabo basseeyo ebyabwe olwo omusango gutandike okuwulirwa nga September 9, 2025.
Munnamateeka wa KCCA, David Were yatuuse bamaliriza, omulamuzi n’amusomera ky’asazeewo so ng’oludda lwa Ssaabawolereza wa Gavumenti terwakiikiriddwa. Abasuubuzi baafulumye kkooti nga bawaga nti, balindidde ebbanga nga Gavumenti tebafaako ate nga baasasula KCCA obukadde 1,800 ssaako obukadde 90 obwa busuulu.
Ssentebe waabwe Godfrey Kakooza yennyamidde olw’ebbanga ly’emyaka lye bamaze nga ne bannaabwe bangi bafudde ate abalala tebakyalina mirimu.
Yagambye nti, okugula akatale ako, yali nkola ya Gavumenti ey’okukulaakulanya obutale bwa KCCA mu Kampala nga bayita mu kubuguza ababukoleramu kwe kusonda ssente okuva mu 2009 kyokka akatale ne bakabaggyako