Bakunyizza omukungu a KCCA

ABABAKA ba Palamenti bakunyizza omukungu wa KCCA, oluvannyuma lw’okukitegeerako nti terina pulaani yonna ku mazzi aganjaala mu Kampala.

Bakunyizza omukungu a KCCA
By Bukedde Omusunsuzi
Journalists @NewVision

ABABAKA ba Palamenti bakunyizza omukungu wa KCCA, oluvannyuma lw’okukitegeerako nti terina pulaani yonna ku mazzi aganjaala mu Kampala.
Kiddiridde omuwandiisi wa minisitule ya Kampala, Monica Edemachu Ejua okutegeeza ababaka abatuula ku kakiiko ka Palamenti akalondoola ensaasaanya y’ensimbi mu bitongole bya gavumenti nti tewali nteekateeka ku mazzi aganjaala mu Kampala ne gavaako enguudo okubomoka.
Ssentebe w’akakiiko kano, Muwanga Kivumbi (Butambala) ye yasoose okubuuza Edemachu annyonnyole enteekateeka gye balina okulwanyisa ekizibu ky’amazzi aganjaalira mu nguudo z’omu Kampala buli enkuba ey’amaanyi lw’etonnya.
Mu kwanukula Edemachu yagambye nti tebalina nteekateeka ya maanyi wabula nga balina essuubi ery’okulwanyisa ekizibu ekyo.
Kino kyawaliririzza omubaka Hope Grania Nakazibwe (mukazi/Mubende) okumusaba antangaaze ebitundu ebirala ebikosebwa amazzi bye bavunaanyizibwako n’okulaga obuvunaanyizibwa bwa bwe webukoma.
Ng’oggyeeko Kampala, n’okuvunaanyizibwa ku kitongole kya KCCA, yanokoddeyo ebitundu ebyetoolodde Kampala nga Mukono, Wakiso n’e Mpigi .