ABASUUBUZI mu katale k’e Wandegeya beemulugunyizza ku mbeera embi gye bakoleramu.
Aisha Nalubega musuubuzi mu katale kano agamba nti kali mu mbeera mbi ddala, okutandikira ku kaabuyonjo ng’ezimu zibomose naddala omukyamirwa abaliko
bulemu.
Kaabuyonjo zino zitutte emyaka egisukka ebiri nga zaayonooneka kyokka ne bwe beekubira enduulu KCCA tenyega. Yagambye balina ofiisi ya KCCA mu katale omutuula abakungu era babaloopedde embeera gye bakoleramu enfunda eziwerako kyokka tebafaayo. Kati KCCA yasalawo emiryango gya kaabuyonjo okusibako wuzi okutangira abasuubuzi okuzikozesa. Agamba nti kaabuyonjo zino zitadde obulamu bwabwe ku bunkenke kubanga zaafuuka byangaala.
Yagasseeko nti kaabuyonjo endala zaabuukako enzigi. Sinki zaabomoka ne zigwamu, ne ttaapu tezikyakola. Gye buvuddeko ekitongole ky’amazzi kyagasalako ne bamala wiiki ssatu nga tebalina mazzi kyokka nga KCCA tefaayo.
Yayongeddeko nti ezimu ku nzigi z’akatale ziri mu mbeera mbi naddala olw’emmanju olwayonooneka nga terukyasobola kweggala yadde okweggula. nga kati
bakozesa lwa mu maaso. Agamba nti olw’okuba tewali bukulembeze kibanyiga nga buli kyonooneka tewali afaayo kubanga tewali avunaanyizibwa butereevu.
Ate Aisha Mbabazi omusuubuzi w’amenvu mu katale agamba nti balina ekizibu ky’amasannyalaze mu katale ng’abagalondoola ababasomera yuniti bagabanyiyisizza
olw’okubabala omufuulo ne babakuba bbiiru eziri waggulu.
Agamba nti embeera gye bakoleramu ebanyigiriza nga tebalina gye baddukira kubanga tewali batuusa ddoboozi lyabwe mu bakama baabwe.
Yagasseeko nti akatale kakyagaanye okukulaakulana lwa maduuka agakyasigadde
nga maggale nga temuli bakoleramu.
Mangi ku maduuka gano KCCA yalemererwa okugagabira abantu abatalina we bakolera
abali ku nguudo nga baagaggala olw’obukwakkulizo obutategeerekeka bwe baateekawo.
Amalala bannyinigo abaagenda edda bakozesa olukujjukujju ne bagapangisa abantu be baggyako ssente mu lukujjukujju kyokka nga pulezidenti yakigaana.
Wabula omwogezi w’ekitongole kya KCCA, Daniel Nuwe Abiine bwe yatukiriddwa yategeezezza nti baakulondoola ensonga zino