KCCA ezzeemu okusimba omuddo n'erabula abagulinnyamu

EKITONGOLE kya KCCA kizzeemu enteekateeka z’okusimba omuddo mu bifo we gwali ne kirabula  abantu obutageza ku kulinnyirira ne kiguviirako okukala.

KCCA ezzeemu okusimba omuddo n'erabula abagulinnyamu
By Eria Luyimbazi
Journalists @New Vision
#Amawulire #Muddo #Kugulinnyamu #Kulabula #Kusimba

EKITONGOLE kya KCCA kizzeemu enteekateeka z’okusimba omuddo mu bifo we gwali ne kirabula  abantu obutageza ku kulinnyirira ne kiguviirako okukala.

Kino kiddiridde ogumu ku muddo ku Luwum Street n’okuliraana omulyango oguyingira mu kikuubo ogwali gwazimbibwa okukala olw’omusana n’omulala abantu naddala abatundira ku kkubo okugulinnyirira negukala nga kati ezeemu okukusimba kuddemu okukula.

Aba KCCA nga basimba omuddo.

Aba KCCA nga basimba omuddo.

Ku Lwokusatu abaserikale ba KCCA abakulembeddwaamu Hakim Lubega bazemu okusimba omuddu mu bitundu wegwaali wabula negukala olwómusana nábantu okugulinyirira.

Lubega yagambye ku mulundi guno omuddo oguzeemu okusumbibwa bagutaddeko olukomera okutangira abantu okugulinya era ng bagenda nókukufukirira buli kiseera okulaba nga gukula.

Yagambye nti era abaserikale ba KCCA bakukuuma omuddo guno okulaba nga tewali bagutambuliramu yadde abatundiramu nga abanaakwatibwa baakutwalibwa mu kkooti bavunaanibwe kuba KCCA erimu mu kussaawo n’okulabirira ebifo ebirina okubeeramu obuddo wamu nemiti  nga kino kiri mu kibuga Kampala wonna.

Yategeezezza nti era abaserikale ba KCCA bakeera ku nguudo okulaba abamala gasuula kasasiro, abalinnya mu muddo kuba waliwo abantu abagulinnyamu entakera nga beetaaga okitangira okulaba nga omuddo gukula