Amawulire

Basabye Palamenti ku yinsuwa y’obulamu

ABAKUGU mu bya yinsuwa basabye ababaka ba Palamenti abaalondeddwa basoosowaze yinsuwa y'ebyobulamu kisobozese Bannayuganda okufuna obujjanjabi obulungi.

Eugine Mutereke akulira Jubilee Insurance (ku kkono) nga yeegeyaamu n’abakugu mu bya yinsuwa.
By: Bukedde Omusunsuzi, Journalists @NewVision

ABAKUGU mu bya yinsuwa basabye ababaka ba Palamenti abaalondeddwa basoosowaze yinsuwa y'ebyobulamu kisobozese Bannayuganda okufuna obujjanjabi obulungi.
Bano okuva mu kkampuni za yinsuwa ez'enjawulo, baasinzidde mu nsisikano gye baabaddemu mu Kampala okukubaganya ebirowoozo ku biteekeddwa okukolebwa okwongera okwagazisa Bannayuganda okwettanira enkola za yinsuwa omuli n'ebyobulamu.
Abakugu mu bya yinsuwa mu bubaka bwabwe obwasomeddwa akulira Jubilee Insuarance, Eugine Mutekere, baategeezezza nti, Bannayuganda bangi tebannamanya bukulu bwa yinsuwa. Baagambye nti, ssinga Gavumenti eteekawo yinsuwa y'ebyobulamu, kijja kubazuukusa bamanye amakulu gaayo.
Mutekere yayongeddeko nti, abantu bwe banaategeera yinsuwa ezisobola okubayamba nga bagudde ku bibamba, kijja kukendeeza omuwendo gw’abo abalaajanira Gavumenti okubadduukirira nga bafunye obuzibu.
Aba yinsuwa era baayogedde ku nteekateeka gye balina okwongera okusomesa Bannayuganda ku bukulu bw'okwettanira enkola za yinsuwa ez'enjawulo.

Tags: