Amawulire

Agambibwa okutemula owa UCU agguddwaako emisango 2

EBYOKWERINDA byanywezeddwa ku kkooti esookerwako e Mukono, ng’agambibwa okutta eyali avunaanyizibwa ku nsonga z'abayizi mu ttendekero lya Uganda Christian University, Pamela Ruth Tumwebaze aleetebwa mu kooti.

Taewaiko mu kaguli.
By: Bukedde Omusunsuzi, Journalists @NewVision

EBYOKWERINDA byanywezeddwa ku kkooti esookerwako e Mukono, ng’agambibwa okutta eyali avunaanyizibwa ku nsonga z'abayizi mu ttendekero lya Uganda Christian University, Pamela Ruth Tumwebaze aleetebwa mu kooti.
Tumwebaze yattibwa ku kyalo Ggwafu ekisangibwa e Sseeta-Mukono bwe yasangibwa mu kisenge kye nga takyategeera ne bamuyoolayoola n’afa nga yaakatuusibwa mu ddwaaliro.
Dak Hussein Taewaiko 21, eyali omukozi mu maka g’omugenzi yatuusiddwa ku kkooti wakati mu bukuumi obw’amaanyi n’atwalibwa butereevu mu kaduukulu k’ekkomera lya kkooti. Baamusoosezza ku poliisi e Mukono gye yamaze ebbanga, oluvannyuma n’aleetebwa ku kkooti.
Taewaiko eyabadde asibiddwa enjegere ku mikono n’ebigere, yaleeteddwa mu kkooti olwo omulamuzi wa kkooti esookerwako e Mukono, William Muwonge n’amusomera emisango ebiri; ogw’okutta n’okukozesa eryanyi okubba ebintu by’omugenzi omuli essimu, laptop, charger, akasawo omuterekwa ebiwandiiko n’ensimbi z’amawanga okuli Kenya ne Botswana ezibalirirwaamu 200,000/.
Omulamuzi yamugaanye okubaako ky’ayogera n’amutegeeza nti, wa ddembe okuteekamu okusaba kw’okweyimirirwa mu kkooti Enkulu yokka.
Omuwaabi wa Gavumenti, Emily Ninsiima yategeezezza kkooti ng'okunoonyereza bwe kukyagenda mu maaso, n'amusindika ku alimanda okutuusa nga March 19.

Tags: