TEKINOLOGIYA gy’akomye okukula, amasomero nago gongedde okwettanira enkola ez’enjawulo mu byenjigiriza ekiwewudde abazadde n’abasomesa.
Enkola ez’enjawulo ezettanirwa amasomero kuliko ez’okusasula ffiizi, ey’okulondoola obudde abayizi n’abasomesa bwe batuukirako n’okuva ku ssomero, kamera okulondoola ebigenda mu maaso ku ssomero ne mu bibiina ne kkaadi okussibwa ssente za ‘pocket money’.
Nsangi SS lye limu ku masomero agettanidde tekinologiya nga lirina abayizi 2,000 era alikulira, Emmanuel Nalumenya agamba nti, ng’ensi ekula, abantu basaanye okutambula n’enkyukakyuka.
Agamba nti, amasomero tegasaanye kutya kutandika kukozesa tekinologiya wabula galina kukikola mu mitendera kuba ku nkomerero kye banoonya, be bayizi okuyitira waggulu.
ENSASULA Y’EBISALE:
Gye buvuddeko, abayizi n’abazadde ng'ebisale babisasulira wa bbaasa w’essomero oba mu bbanka. Mu nkola eno, baafunirangamu ebizibu omuli abafere, okusalibwa ensawo, abayizi okuzza ssente mu byabwe ne balimba nga bwe bazibabbyeeko, n’ebirala.
Nalumenya agamba nti, kati omuzadde ffiizi azisasulira wonna w’ali ng’akozesa essimu ye ku mpeereza yonna gy'aba ayagala. Yagasseeko nti, omuzadde aweebwa ennamba y’omuyizi kw’alina okusasulira ffiizi ng'eno ereeta amannya g'omwana gennyini oba okufuna ennamba y'essimu kw'asindika ffiizi, oluvannyuma n'afuna obubaka obulaga nti, asasudde sinnakindi okufuna lisiiti okuva ku ssomero.
KKAMERA:
Mu masomero agamu, kati kkamera tezikozesebwa kunyweza byakwerinda byokka, wabula n’okulondoola abayizi n’abasomesa. Nalumenya agamba nti, naye yateeka kkamera mu buli kibiina, mu kasenge abasomesa we bakung’aanira ne wabweru w'essomero. Yategeezezza nti, kkamera ziyambye okukendeeza obubbi mu bayizi kuba bwe wabaawo ekibuze, kwe bakebera ne bazuula akibbye. Yagasseeko nti, abasomesa abamu balina endowooza nti, amasomero ga Gavumenti kifo kya kuwummuliramu nga balowooza bajja kweyisa nga bwe baagala, wabula kkamera zimuyambye okumalawo okwebuzaabuza kw’abasomesa.
N’agamba nti, bwe kituuka ku by'okulondoola abayizi nga bali mu bibuuzo, zibayamba okulaba abakoppa, era kati abayizi batya okukoppa nga bamanyi kkamera zibaketta. Era zirondoola enneeyisa y’abayizi mu kaseera nga bali mu kusomesebwa n’okumalawo obugayaavu mu basomesa.
OBUUMA ABAYIZI N'ABASOMESA KWE BEEWANDIISIZA NGA BAYINGIRA N’OKUFULUMA ESSOMERO:
Amasomero gagenda gadibya enkola y’abayizi n’abasomesa okuwandiika mu bitabo nga
batuuse ku ssomero oba nga bafuluma. Enkola eno esikiziddwa obuuma bukalimagezi obukozesa ebinkumu ng'omuyizi bw’atuuka ku ssomero, ateekako ekigalo ekisajja, olwo omuzadde n’afuna obubaka ku ssimu ye obumukakasa nti, omwana atuuse ku ssomero era n'obudde bw'atuukiddemu. Ne bw’aba avaayo, akola ekintu kye kimu era omuzadde n’afuna obubaka ku ssimu nti, omwana we avuddeyo. Mu ngeri eno, ssinga omwana akeerewa okutuuka awaka, kyanguyira amuvunaanyizibwako okufuna w’atandikira mu kunoonyereza.
Abayizi n’abakozi b'essomero baggyibwako ebinkumu n’ebibakwatako ne biteekebwa mu sisitiimu, nga buli lw'atuuka ekigalo ku kuuma kano, kaleeta kitereka ebimukwatako.
Nalumenya y’omu ku bakulu b’amasomero abadibizza enkola y’okuwandiika mu kitabo era agamba nti, tewali bwerufu mu nkola ya kuwandiika mu bitabo kuba abamu ku bayizi n’abasomesa batuuka kikeerezi wabula mu kuwandiika ne balaga nti, bakedde. Agamba nti, n’abayizi bamanyi okuwandiikira bannaabwe, ekitali ku buuma buno bu kalimagezi. Yagambye nti, omuzadde asasula 10,000/- gwokka ttaamu ne zikola ku sisitiimu eno.
Nalumenya agamba nti, ku nkomerero ya wiiki, akola ku sisitiimu eno afulumya lipooti, era ye ng'omukulu w’essomero n'afuna ey’abasomesa okumanya obudde bwe batuukirako okwewala okwebuzaabuza.
“WRIST BANDS”
Enkola eno mpya mu masomero naddala aga siniya ng’osobola okugisanga ku Gombe SS e Kawaala mu Kampala. Eyambye nnyo okukendeeza obubbi mu bayizi, kuba omwana tatereka ssente nkalu wabula afuna kkaadi efaanana akakomo kwe baziteeka.
Kkaadi eno, omuzadde agifuna ku 50,000/-, ne bamuwa ennamba y'omwana we gy'asindikangako ssente. Omwana bw’aba ne by’ayagala okugula, gy’atwalayo ne batoola okwo.
WHATSAPP GROUP
Mu biseera ebikadde, ng'omuzadde atindigga olugendo n’agenda ku ssomero, okumanya ebigenda mu maaso oba okukubayo essimu ne bamubuulira ebifaayo. Kati amasomero galina 'WhatsApp Group' mwe bateeka ennamba z'abazadde. Kale bwe wabaawo obubaka bwe baagala okumanyisa abazadde, babuteekayo nga bulambulukufu bulungi.
OMUYIZI BW’AKOZE MU BIBUUZO:
Mu myaka emikadde, omuzadde yalina okugenda ku ssomero okumanya omwana bwe yakoze ebibuuzo naye kati okwata ssimu n’oyingizaamu ennamba y’omuyizi eyamuweebwa ku ssomero ne paasiwaadi olwo ‘report’ ne zijja zonna okuva lwe yatandika okusomerayookutuusa ku ya ttaamu eyasembyeyo. Kino kikola mu ngeri ne ku bibuuzo eby’akamalirizo omuli ebya P.7, S.4 ne S.6.