Amawulire

Omulabirizi wa West Buganda akiise embuga;Mayiga yeeyamye okukuuma enkolagana n’eddiini zonna

OMULABIRIZI w'Obulabirizi bwa West Buganda omuggya, Gaster Nsereko akiise e Mmengo okweyanjula mu butongole n'okunyweza enkolagana n'Obwakabaka.

Bp. Nsereko (ku kkono), Katikkiro Mayiga (ku ddyo) n’abakungu b’e Mmengo abalala.
By: Bukedde Omusunsuzi, Journalists @NewVision

OMULABIRIZI w'Obulabirizi bwa West Buganda omuggya, Gaster Nsereko akiise e Mmengo okweyanjula mu butongole n'okunyweza enkolagana n'Obwakabaka.
Obugenyi buno bwabaddewo ku Lwokutaano nga February 20, 2026. Bp. Nsereko eyatuuzibwa nga March 30, 2025 yagambye nti aluddewo okukiika embuga olw'ensonga nnyingi ezibadde zirina okukolebwako, n'alaga essanyu nti kirungi ekiseera kituuse n'ajja okuwoza olutabaalo lw’ebyo bye yayitamu ng'atuuzibwa ate n'okwanja enteekateeka ze.
Bp. Nsereko yeebazizza Obwakabaka olw'okwetaba ku mukolo gw'okutuuzibwa kwe mu maanyi n'agamba nti enkolagana eno, agitwala nga nkulu eri Ekkanisa.
Katikkiro wa Buganda, Charles Peter Mayiga bwe yabadde ayaniriza Bp. Nsereko n'ekibinja kya bannaddiini kye yayise nakyo, yagambye nti okukyala kwe, kabonero akalaga nti Buganda yaakudda ku ntikko ssinga buli omu yeenyigira mu nkulaakulana yaayo nga ne bannaddiini mw’obatwalidde.
Mayiga yagambye nti, Obwakabaka bwakugenda mu maaso n’okukuuma enkolagana n’enzikiriza zonna mu ggwanga.
“Enkolagana eyo eri mu nnono y'Ekkanisa n'Obwaka-baka, ffe abaliwo kaakati mulimu gwaffe okulaba ng'ekuumibwa. Ennono eno erina okukuumibwa ffe abaliwo n'abalituddirira, Ekkanisa ekolaganenga n'Obwakabaka," Mayiga bwe yagambye.
Yagasseeko nti, Obwakabaka bwa Buganda y'entabiro y'okuleetebwa kw'eddiini mu Uganda bwe zajja kuno ku mirembe okuli ogwa Ssekabaka Ssuuna II ne Ssekabaka Muteesa I.
Katikkiro Mayiga yeebazizza Katonda eyawadde Bp. Nsereko obuvunaanyizibwa buno n’agamba nti, okulondebwa kwe kyakulabirako eri abakozi nti, bw’oweereza obulungi osiimibwa.
Omulabirizi Nsereko eyabadde ne mukyala we, yeebazizza Kabaka Muwenda Mutebi II olw’okwagaliza essaza ly’e Buddu ebirungi n’anokolayo eddoboozi lye eryavaamu ekibuga Masaka okufuulibwa City ekintu ekyabacamula ennyo.
Yatenderezza obukulembeze obulungi obwoleseddwa abakulembeze b’Obwakabaka obuleese pulojekiti n’ebintu bingi ebigasizza abantu omuli ‘Emmwaanyi Terimba’ n’ebirala.
Bp. Nsereko yeetikkidde Katikkiro Mayiga ebirabo omwabadde amatooke, enkoko n’ebirala.
Abagenyi bano, Katikkiro Mayiga yabaanirizza ng’ayambibwako; baminisita okuli; Noah Kiyimba owa kabineeti n’olukiiko, Israel Kazibwe owaamawulire n’okukunga abantu, Coltilda Nakate Kikomeko ow’enkulaakulana y’abantu n'abakungu abalala

Tags: