Amawulire

Omuserikale avudde mu mbeera n’atta banne basatu

EKIKANGABWA kigudde mu kkomera lya Gavumenti ery’e Kiboga, omuserikale akuuma abasibe bw’akubye bakamaabe basatu amasasi agabattiddewo oluvannyuma emmundu n’agisuulawo n’adduka.

Ambyulensi ng’ereese emirambo gy’abaserikale abattiddwa. Mu katono y’omu ku boofiisa abattiddwa.
By: Bukedde Omusunsuzi, Journalists @NewVision

EKIKANGABWA kigudde mu kkomera lya Gavumenti ery’e Kiboga, omuserikale akuuma abasibe bw’akubye bakamaabe basatu amasasi agabattiddewo oluvannyuma emmundu n’agisuulawo n’adduka.
Bino byabaddewo ku Mmande ku ssaawa 4:00 ez’oku makya ku kkomera lya Gavumenti e Kiboga omuserikale w’amakomera nnamba 3544, Moses Anguyo bwe yakutte emmundu n’akuba bakamaabe okuli; ASP Hope Catherine amyuka akulira ekkomera eryo, Akishuri Bright ne Sarah Ayebare mukyala w'akulira ekkomera e Kiboga.
Omwogezi w’ekitongole ky’amakomera, Frank Baine yagambye nti, Anguyo yakutte emmundu n’akuba amasasi agattiddewo ASP Catherine Hope, abadde akulira abaserikale bonna ababadde ku mulimu ku Mmande, Bright Akishuri nnamba ssatu mu bakulira ekkomera ly’e Kiboga ne Sarah Ayebare mukyala w’akulira ekkomera lino.
Oluvannyuma lw’ettemu lino, poliisi yategeezeddwa, n’egenda mu kifo kino oluvannyuma ne bazuula emmundu gye yakozesezza nga bakyanoonyereza ekyavuddeko Anguyo okukuba bakamaabe amasasi.

Tags: