EBIBINJA by’ababbi ababbira ku bodaboda bizzeemu okutaama mu bitundu bya Kampala n’emiriraano, nga kati basinga kuteega ab’emmotoka abava okukola ne babanyagako ssente n’ebintu ebikalu.
Okusinziira ku butambi obukwatiddwa kkamera z’oku mayumba ne busaasaanira emitimbagano, ababbi batambulira mu kibinja kya bodaboda ezisoba mu 10, ng’ezimu zijja zirondoola ow’emmotoka gwe baba bamaze okupima nti, alinamu ssente, ate endala ne zeebulizabuliza okuliraana amaka g’omuntu gwe baagala okubba.
Ababbi abajja balondoola emmotoka baba ku masimu nga bawuliziganya ne bannaabwe ababa bamaze okugabana enfo okuliraana awaka w’omuntu gwe baagala okunyaga, kubanga baba bamaze ekiseera nga balondoola entambula ze. Bw’otuuka awaka ng’okuba eng’ombe bakuggulirewo, obutambi bulaga ababbi nga bava ku bodaboda n’amajambiya ne boolekera awali emmotoka, ne bakukaka obaggulirewo. Olumu bakulinda n’ovaamu weggulire ggeeti, ne bakuzingako bulungi n’amajambiya amoogi ne bakunyaga nga tewali ayamba.
Akatambi akalala akalaga nti, kaakwatiddwa ku Lwomukaaga lwa wiiki ewedde, kalaga ababbi babiri abaapangisizza owa bodaboda, kyokka ne babaako we batuuka n’ayimirira ne bavaako, mu sikonda ntono omubbi n’asikayo ejjambiya gye yabadde akukulidde mu mpale ye, n’agigalulira owa bodaboda ng’amugamba abuukeko mangu ku booda. Owa booda yabadde agezaako okwesisiggiriza, omubbi n’amutema ejjambiya ku mugongo, era pikipiki n’agibuukako n’agirekera ababbi ne beggyawo.
Ababbi ababbye omusuubuzi obukadde 60 ku kizimbe kya Ggwanda mu Kisenyi, nabo baabadde n’ejjambiya eriko obwogi obw’amaanyi, era omu yagezezzaako okutema omusajja eyabadde abaziyiza okunyaga ssente zino. Bino byabaddewo ku Lwokutaano oluwedde mu kibuga wakati.
Abasuubuzi Bukedde be yayogeddeko nabo, baagambye nti, ababbi bano bajjidde ku pikipiki nga musanvu ne babuna obufo obw’enjawulo, n’ekigendererwa eky’okwang’anga abo bonna ababa bagezaako okutaasa. Era bwe baamaze okunyaga ssente, ne balinnya pikipiki zaabwe ne beggyawo.
POLIISI YAAKAKWATA 1095
Poliisi eyongedde amaanyi mu bikwekweto byayo, n’ekwata abantu 1095 abateeberezebwa okuba n’akakwate ku bubbi buno obweyongedde ensangi zino, mu bitundu by’eggwanga eby’enjawulo.
Omwogezi wa Poliisi mu ggwanga, Kituuma Rusoke yagambye nti, poliisi okukola ebikwekweto bino, kiddiridde okufuna okwemulugunya okuva mu bantu olw’obumenyi bw’amateeka obususse mu bitundu gye babeera, omuli okubbisa ebissi n’eryanyi, okuteega abantu ku nguudo, okubayingirira mu mayumba n’emisango emirala.
Yagambye nti, mu bikwekweto ebikoleddwa wakati wa February 16 ne 22, 2026, essira abaserikale balitadde ku bifo eby’obulabe (Black Spots) gye baakwatidde abaabaddeyo, nga bano abatuuze babasonzeemu ennwe nti, bamenyi b’amateeka.
Mu bikwekweto ebyakoleddwa mu Kampala n’emiriraano, abantu abasoba mu 700 be baakwatiddwa naddala mu bitundu by’e Kira, Bweyogerere, Mukono, Kyanja, Nsangi, Katwe, Ntebe ng’eno ku bantu 20 abaakwatiddwa, kuliko bana ababadde beenyigira mu misango gy’okubbisa eryanyi.
Mu kitundu kya KMP East, poliisi ekutte 224 omuli n’akabinja akabadde kateega n’okubba abantu ku luguudo lwa Lugogo Bypass, nga kasumulula n’ebintu ku mmotoka. Mu KMP South baayodde 510. Ebikwekweto bino bikyagenda maaso, kubanga Poliisi erina enkalala z’ababbi b’ekyanoonya.
POLIISI EWADDE ABANTU OBUKODYO
Omwogezi wa poliisi mu Kampala n’emiriraano, Rachael Kawala yagambye nti, waliwo abantu bye balina okukola, okwewala abamenyi b’amateeka abasusse okubatawaanya. Kuliko;
l Okwewala okutambula ekiro ng’oli bw’omu.
l Okwewala okuyita mu bifo awali enzikiza kuba abamenyi b’amateeka gye beekweka.
l Okwewala okutambula ne ssente ennyingi n’asaba abalina ssente ennyingi okutuukirira poliisi ebawe obukuumi.
l Abeebikomera nga tebannatuuka gye balaga, basooke beetegereze embeera oba waliwo ababagoberera oba okukubira abantu baabwe abali munda babaggulire mangu.
l Okuteeka kkamera enkessi ku bikomera byabwe ebisobola okukwata ebifaananyi nga bwe zaakutte abeebijambiya abaalumbye eyabadde aweese ensawo mu ppaaka ya ttakisi eya Ggwanda mu Kisenyi.
l Okuteeka ettaala ku bikomera.
Aba LC mu bitundu eby’enjawulo okutuuza enkiiko z’ebyalo okusobola okufuna ebirowoozo naddala ebikwata ku by’okwerinda by’ebitundu byabwe.
POLIISI EKUNYIZZA OMUVUBUKA GWE BABBYEEKO SSENTE MU KISENYI
Poliisi ezudde omusajja abeebijambiya gwe babbyeeko ekisawo kya ssente, ku kizimbe kya Ggwanda mu Kisenyi, n'emukunya.
Michael Ssekulima, ye yakunyiziddwa ku Poliisi ya Kampalamukadde, okuzuula oba yabadde mu lukwe n'abasajja abaamusazeeko, oba nedda.
Poliisi yasoose kukunya agambibwa okuba nnannyini ssente, eyategeerekese nga Dorah Komuhangi, era ono kigambibwa ye yabadde awadde Ssekulima ssente azimutwalire mu bbanka. Poliisi egamba nti, newankubadde yatemeddwa, Ssekulima, teyawaabye musango ku poliisi, n'alinda mukamaawe, Komuhangi, n'awaaba, ekintu poliisi ky'egamba nti, kyabalekedde ebibuuzo bingi.
Bino we bijjidde nga Poliisi ekyanoonyereza ku butambi obulala obw’enjawulo, obulabikiramu abasajja abatambulira ku ppiki nga baliko owa bodaboda gwe batema n'oluvannyuma ne bamubbako ppiki, n'akalala akalaga ababbira ku ppiki abaabadde bateeze omutuuze bamubbe ng'ayingira ku ggeeti, kyokka n'abatebuka n'avuga ng'adda ekyennyumannyuma n'ababulako.
Poliisi egamba nti, bayisizza ekiragiro, abavuzi ba bodaboda obutaddamu kusimba ppiki zaabwe kumpi ne bbanka era kati bateekateeka kulaba ngeri gye bayinza okuyambamu n'abaamaduuka ga Mobile Money