Bapulomoota baabulidde Balaam ne badda mu kibiina kye baavaamu

BAPULOMOOTA beetemyemu ne bakola ekibiina ekipya nga bagamba nti kye bavuddemu kibadde kibanyigiriza.

Abamu ku bapulomoota abaalondeddwa okuli Abtex (mu nkofiira eneetoloovu) eyalondeddwa ku bwapulezidenti. Amuli ku ddyo ne Benon Kaseenene ate amuli ku kkono ye Julius Kyazze owa Swangz avenue ne bapul
By Bukedde Omusunsuzi
Journalists @NewVision

BAPULOMOOTA beetemyemu ne bakola ekibiina ekipya nga bagamba nti kye bavuddemu kibadde kibanyigiriza.

Bapulomoota b’ekibiina kya Federation of Uganda Events Organizers and Promoter’s Association (FUPA) nga kye kyasookawo mu 2014, beekutudde ku kirala ekibadde kigatta Bapulomoota ekiyitibwa Uganda National Promoters Federation (UNPF) ekyatandise omwaka guno nga bagamba nti, baasoose kukyegattako nga balowooza nti ebigendererwa byakyo bibakwatako kyokka byabaddemu ebitagenda bulungi omuli okusosola bapulomoota kwe kusalawo bazzeewo ekyasooka.

FUPA bwe kyawandiisibwa, kyakulemberwa Pulomoota Benon Kaseenene (BK) kyokka bwe yagenda e Bulaaya okusoma ne kisiriikirira.

Gye buvuddeko, abamu ku baali bakikulembera okuli Abby Musinguzi (Abtex), Andrew Mukasa Bajjo ne bannaabwe, baabadde beegasse ku kya UNPF kyokka baamazeeyo mwezi ne bavaayo ne badda mu kyasookawo nga bagamba nti, kirimu endowooza z’ebyobufuzi nnyinyi ate ngabo tebali mu byabufuzi.

Aba FUPA baatudde ku Kenlon Hotel e Mengo ne balonda obukulembeze obupya okwabadde Abtex nga Pulezidenti ng’amyukibwa abantu basatu okuli kazannyirizi Alex Muhangi, Robert Nkuhe ne Julius Kyazze akulira ekibiina kya Swangz avenue. Bajjo ye mwogezi w’ekibiina Yasin Kaweesi ye muwandiisi, Dr. Tee (Travis Kazibwe) ye muwanika, Tonny Ssempijja ye mukwanaganya w’emirimu mu ggwanga ng’amyukibwa Mukaaya owa Mukaaya Events.

Abtex yagambye nti ekibiina kyabwe kigenda kukolagana na buli muntu ne bw’atabeera pulomoota kasita abeera ng’ayagaliza eby’abayimbi n’ebisanyusa.

Bano okutandika ekibiina ekipya basangiddwa nga beegattira mu kibiina Uganda National Promoters Federation ekibadde kikulira Abtex, wabula yafunyemu obutakkaanya ne Balaam nga buva ku kivvulu kya Pallaso, Balaam kye yategeka kyokka Abtex n’assaawo ekivvulu kya Alien Skin ku lunaku lwe lumu.