Bannayuganda abali ebweru bakubiriziddwa okutunda ennyonyi ya Uganda Airline
Gavumenti ekunze abakungu abakikirira Uganda mu mawanga g'ebweru okubeera abasaale mu kutunda Ennyonyi ya Uganda mu mawanga gyebali ng'omu ku kawefube w'okutumba Eby'Obulambuzi ko n'Ebyenfuna eby'e Ggwanga.
Okumbula Uganda Airline
By Bukedde Omusunsuzi
Journalists @NewVision
Gavumenti ekunze abakungu abakikirira Uganda mu mawanga g'ebweru okubeera abasaale mu kutunda Ennyonyi ya Uganda mu mawanga gyebali ng'omu ku kawefube w'okutumba Eby'Obulambuzi ko n'Ebyenfuna eby'e Ggwanga.
Omuwandiisi ow'enkalalira mu Minisitule y'Ebyensimbi Ramathan Ggoobi,asinzidde mu nsisinako etegekeddwa ekitongole ekivunaanyibwa ku Nnyonyi y'e Ggwanga ekya Uganda Airlines mu Kampala okutema Empenda ku butya bwebayinza okwagizisa Abangereza abajja mu Uganda okweyambisa Uganda Airlines.
Ggoobi agambye nti Uganda esse eteekawo amakubo ag'enjawulo okulabanga eyingiza ensimbi mu Ggwanika ly'e Ggwanga nga wano yanokoddeyo okujjibwawo kw'Ennyonyi y'e Gganga nga kati yakugenda n'e London mu Bungereza n'ategeeza singa eba ekozeseddwa bulungi esobola okuleeta Ssente.
Ono agamba nti singa abantu abava ebweru beyambisa Ennyonyi ya Uganda Airlines kijja kuyamba n'okutumbula eby'obulambuzi.
Ye akulira Uganda Airlines Jennifer Bamuturaki agambye nti eky'Ennyonyi ya Uganda okutandika okugenda e London kya kubayamba nnyo okwongera ku bungi bw'abantu be basaabaza n'asiima gavumenti olw'obuwagizi bw'ebawadde.
Mu nsisinkano eno Minisita Omubeezi ow'Ebyentambula Fred By