Amawulire

Bannayuganda 103 bavundira mu makomera ku kyeyo

BANNAYUGANDA abasoba mu 400 abaagenda ku kyeyo mu mawanga ga Buwalabu okukuba ekyeyo bali mu makomero naddala e Saudi Arabia, bavundira eyo oluvannyuma lw’okukwatibwa ne baggalirwa olw’emisango egyenjawulo.

Omubaka Muwadda
By: Bukedde Omusunsuzi, Journalists @NewVision

BANNAYUGANDA abasoba mu 400 abaagenda ku kyeyo mu mawanga ga Buwalabu okukuba ekyeyo bali mu makomero naddala e Saudi Arabia, bavundira eyo oluvannyuma lw’okukwatibwa ne baggalirwa olw’emisango egyenjawulo.
Bukedde afunye olukalala lw’amannya 103 aga Bannayuganda abali mu makomera nga 99 baggalirwa Saudi Arabia, ate abalala mu United Arab Emirates, Jordan ne Syria.
Amannya gano gaakung’aanyiziddwa ekibiina omwegattira bankubakyeyo ekya
 Migrant Workers Voice Network Association’, ekyategeezezza nti luno lwe lukalala
olusooka olwa Bannayuganda abayitirivu abavundira mu makomero g’e Buwalabu gye
baagenda ku kyeyo.
Akulira ekibiina kino, Abdallah Kayonde yagambye nti amannya gano baagafunye okuva ku bantu abaakwatibwa awamu n’abeng’anda zaabwe abamanze emyaka nga
tebabawuliza.
Kayonde agamba Gavumenti tekoze kimala mu kulwanirira abantu bonna bwe bafuna
obuzibu ate baagala kkampuni ezaabatwala ze ziba zibalondoola ate nga bakimanyi nti
tebalina busobozi. Tewali afaayo wadde okugenda mu makomera okubalondoola embeera gye balimu.
Bangi baakwatibwa oluvannyuma lw’okuva ku mirimu gye baali bakolera naddala mu  iyumba oluvannyuma lw’okutulugunyizibwa.
Ne bwe badduka okufuluma eggwanga, balina kusooka kukkirizibwa abaali babakozesa.
Minisita w’ensonga z’ebweru owooludda oluvuganya, Muwada Nkunyingi (Kyaddondo
East) yagambye nti omuwendo gwa
Bannayuganda abasibiddwa mu mawanga g’ebweru mungi nnyo kuba mu Buyindi yokka waliwo Bannayuganda 200 mu makomera ng’abasinga bakazi. E Misiri bayitirivu ate e Myanmar bawera 400.
Muwada yawabudde ensonga y’okutwala abakozi ebweru ereme kulekebwa minisitule y’ekikula ky’abantu yokka, wabula bagatteko ne minisitule y’ebweru w’eggwanga kuba be balina enkizo okubalondoola.
Yasabye wateekebwewo obukiiko obusobola okutaawulula enkaayana wakati ’abakozi n’abakozesa abali mu mawanga g’ebweru kuba amateeka agasinga geekubira nyo eri bannansi b’ensi ezo.
Wadde nga e Dubai baateekawo ekisonyiwo ekiggwaako mu October w’omwaka guno
eri abantu abaliyo mu bukyamu, naye abamu
b lemeddwa n’okufuna ssente ezigula tiketi okubakomyawo.
Abakozi abali ku bitebe bya Uganda yasabye nabo bakubibwemu ttooci ku busobozi
bwabwe mu kuweereza Bannayuganda. Kyewuunyisa okuba ng’ekizimbe okuli
ekitebe kya Uganda e Dubai kiriko CASINO ku mwaliiro ogusooka ekikosa empeereza
y’emirimu.
Omuwandiisi w’enkalakkalira owa minisitule y’ensonga z’ebweru, Vincent agiire yagambye nti kituufu Bannayuganda bangi be bamanyi abaasibirwa mu mawanga
g’ebweru ng’ensonga zeekuusa ku misango egyenjawulo egy’obumenyi bw’amateeka
 g’ettemu, obubbi n’okubeera mu mawanga ago mu bukyamu.
Kyokka Uganda terina buyinza bulagira ggwanga ddala kuyimbula bannansi baayo
 bakwatiddwa mu bumenyi bw’amateeka.
Ebitebe bya Uganda mu mawanga ago biyambako bannansi okubafunira ebiwandiiko
 ’okubawabula nga baliko kye beebuuza.n Kyokka bwe kituuka ku by’okubawolereza si
buvunaanyizibwa bwabwe kuba ogwabwe gwawukana n’emirimu gya ofiisi ya Ssaabawolereza wa Gavumenti.
Mu February w’omwaka guno, omubaka Muwada yatwala ensonga eno mu Palamenti n’eteesebwako.

Tags: