ABASOMI ba Bukedde babiri beewangulidde ebirabo ebizito mu kazannyo akagenda mu maaso akayitibwa Bukedde Agabudde mwe twebaliza abasomi baffe olw’okutuwagira kati emyaka 30 be ddu!
Omukozi wa Bukedde, Musoke Ssonko ng'atambuza pikipiki eyawanguddwa Amos Mbabazi ow'e Nsangi.
Abawanguzi kuliko Bashir Mukiibi ow’e Nateete mu diviizoni y’e Lubaga mu Kampala ng’ono yeewangulidde ettu lya Startimes eririmu TV yinci 32, olubaati lwa sola waati 50, amataala ana (4), bbaatule, dikooda ya Star Times n’ekisowaani kyakwo.
Ate Amos Mbabazi ow’e Nsangi mu disitulikiti y’e Wakiso ye nnamukisa eyawangudde pikipiki okuva mu Simba Automotives Ltd.
Akalulu kano kaakwatiddwa ku Lwokutaano September 6, 2024 mu pulogulaamu Ekyenkya ku Bukedde Ttivvi 1 ekubirizibwa Siraje Kizito.
Omukung’aanya w’olupapula lwa Bukedde Michael Mukasa Ssebbowa yeyakute akalulu Mukiibi mweyawangulidde ettu lya Startimes ate Bruce Byaruhanga atwala eby’okusasanya empapula za Bukedde yeyakutte akalulu, Mbabazi mweyawangulidde pikipiki.
Micheal Mukasa Ssebbowa,omukung'aanya w'olupapula lwa Bukedde ne Bruce Byaruhanga avunaanyizibwa ku kusaasaanya empapula z'amawulire ga Bukedde nga bakwata akalulu.
Ssebbowa yayongedde n’akubiriza abasomi ba Bukedde okwongera okusoma olupapula luno kubanga ebirabo eby’okuwangula bikyali ntoko.
“Nsaba abasomi bongere okusoma olupapula luno, okwongera okwewangulira ebirabo. Akalulu akasembayo kagenda kubeerawo nga September 18, 2024 era abawanguzi bonna ebirabo byabwe bagenda kubifuna nga September 20, 2024,” Ssebbowa bwe yagambye.
Omusomi wa Bukedde eyeetabye mu kalulu kano alina omukisa okuwangula ebintu bingi ebyaweebwayo aba Chapa general enterprises, aba BClara. H property services Uganda Ltd, Star Times ne wooteeri ya Masaka Cultural Center egenda okutwala abantu okuwummulamu mu kibuga Masaka. Kati abawanguzi baweze 24 abazze bafuna ebirabo eby'enjawulo mu kalulu kano.