Abaana bikumi nabikumi okuva mu masomero agalina akakwate ne Klezia Katolika mu ssaza ekkulu ery’e Kampala beeyiye ku kiggwa ky’Abajuizi ba Uganda e Namugongo, okulamaga n’okukuza olunaku lwabwe olwa buli mwaka. Omukolo gwabaddewo ku Lwokutaano nga July 13, 2025.
Abaana nga bayisa ebivvulu
Ssabasumba Paulo Ssemogerere y’asindidde kumukolo guno n’alaga obwennyamivu olw’ebizibui ebingi ebituusibwa ku baana abato, omuli obazadde baabwe okubalagajjalira, n’okubulwa ebisale by’essomero nga kino kiva ku bwavu obuyitiridde. Wabula y’abasabye bulijjo basigale ngabalina essuubi kubanga Katonda tayinza kubaabulira.
“Daana baffe abaagalwa, tumanyi bulungi ebizibu byemusanga, naye temuggwamun maanyi. Musigale nga muli balamazi ab’essuubi. Ate ne Klezia eri nammwe, era ejja kusigala nga etambulira wamu nammwe, ate n’okubasabira,” Ssemogerere bweyategeezezza.
Abaana nga bayisa ebivvulu
Y’abadde ayigiriza mu mmisa gy’eyasomedde abaana Bannakizito ab’essaza ekkulu ery’e Kampala, abaalamaze ku kiggwa ky’Abajulizi e Namugongo (mu disitulikiti y’e Wakiso) ku Lwokutaano nga July 11 (2025). Ekibiina kya Bannakizito kigatta abaana abato, abali mumasomero aga ppulayimale. Kyatandikibwawo omugenzi Ssabepiskoopi Dr Cyprian Kizito Lwanga okuyamba abaana okutumBula ebitone byabwe, omuli obukulembezi, empsia ennungi ez’obugunjufu, n’obujjumbize bw’eddiini, ngabeeyambisa eky’okulabirako kya Kizito Omutuukirivu, Omujulizi wa Uganda eyali asinga obuto.
Omukolo gw’etabiddwako abaana abasukka mu 5,000, ngabaavudde mumasomero agenjawulo, mu ssaza ekkulu ery’e Kampala.
Abaana nga bali ne ssaabasumba
Ssabasumba mmisa yagyisomedde wamu ne Fr Dr Ambrose Bwangatto (omukwanaganya w’emirimo gy’essaza), Fr Denis Yiga (okuva ku YES Centre Nsambya), Dayirekita w’ekitongole ky’abavubuka eky’essaza lya Kampala Fr Joseph Maty Ssebunnya, akulira ekitongole ky’abavubuka ku kitebe kya Klezia Katolika e Nsambya Fr Benedict Mugerwa, n’Abasaserdooti abalala. Omukolo era gwetabiddwako n’abagenyi abaavudde mu America, ngabakulembeddwamu Faaza Joseph Luzindana ne Faaza Boniface Nzabonimpa Kasiita.
Abaana nga bali mu kifaananyi ekyawamu
Mumukolo gwegumu, Ssabasumba Ssemogerere y’alayizza abakulembeze ba Bannakizito abaakalondebwa. Ssabakristu wa Bannakizito mu ssaza ekkulu ery’e Kampala eyalayiziddwa ye Anita Josephine Namutebi (ava Namugongo Girls Boarding PS). Omumyua we ye Cynthia Nakuya ava mu St Theresa Kisubi Girls’ Primary School.