Bannakawempe balaajanye olw’ababba ebikozesebwa ku bitaala by’oku nguudo

OKUBBIBWA kw'ebikozesebwa ku bitaala by'oku nguudo z'omu Kawempe kwongedde enzikiza n'obumenyi bw'amateeka mu kitundu abatuuze ne basaba be kikwatako okusitukiramu. 

Bannakawempe balaajanye olw’ababba ebikozesebwa ku bitaala by’oku nguudo
By Moses Lemisa
Journalists @New Vision
#Amawulire #Bitaala #Kawempe #Kulaajana

OKUBBIBWA kw'ebikozesebwa ku bitaala by'oku nguudo z'omu Kawempe kwongedde enzikiza n'obumenyi bw'amateeka mu kitundu abatuuze ne basaba be kikwatako okusitukiramu. 

Kawempe erina enguudo ez’enjawulo ezassibwako ebitaala okuli olw’e Ttula, Kisaasi, Kazo, Kafeero Road, Mulago, Bwaise n'endala nga mu kiseera kino zonna ziriko enzikiza. 

Kino Ekitaala Baakisokoolamu Bbaatule N'ebikozesebwa Ebirala Ku Bitaala.

Kino Ekitaala Baakisokoolamu Bbaatule N'ebikozesebwa Ebirala Ku Bitaala.

Ebitaala ebimu bikozesa masannyalaze ga njuba, ebirala masannyalaze ga bulijjo ng'abantu abatamanyiddwa baabibbamu ekivuddeko obumenyi bw'amateeka okweyongera olw’enzikiza ennyingi. 

Abavubuka abamenyi b’amateeka bakuba abantu awatali ataasa, ekivuddeko abatuuze okwekubira omulanga bayambibwe. Mmeeya wa Kawempe, Emmanuel Sserunjogi yagambye nti kituufu ebitaala ebimu tebikyakola
olw'okubibbamu bbatuule ne bbalubu n'asaba Bannakawempe nti buli omu okuba mbega wa munne.

Yagasseeko nti bakola ekisoboka okwogera n'abavunaanyizibwa ku nsonga eno mu Kcca bazzeemu bbalubu ne bbatuule nga bwe basala amagezi bireme kuddamu kubbibwa. 

 

Yagasseeko nti okubbibwa kw'ebitaala bino kwongedde obubenje, obumenyi bw'amateeka n'okuzza Kawempe emabega mu nkulaakulana kuba ng'ebitaala bikola, buli kitundu kiba kyeyagaza ekisikiriza bamusigansimbi okussaaamu bizinensi ez’enjawulo.

Juliana Nakandi ow’e Ttula, yagambye nti waliwo ekibinja ky'abasajja kitambulira mu mmotoka abalala ku boda boda amatumbi budde abasumulula ebisaanikira ne bbatuule ku mataala ng'ekisinga okwewuunyisa batera
n'okubba ku bitaala ebiri okumpi ne kkamera. 

Yasabye poliisi etandikire awo okubanoonyerezaako. Gavumenti eyimirize abantu abalonda sikulaapu kuba be basinze okuvaako okubba ebitaala ku nguudo n'ebintu ebirala.