Trump ali mu kafubo ne Pulezidenti Joe Biden gw’agenda okuddira mu bigere nga January 20, 2025 ne balumba emmeeri za America ennwaanyi bbiri eziri mu kyondo ya Buwarabu ne bazikolako ne bazikuba mizayiro n’ebikompola!
Emmeeri za America ezirumbiddwa ye: USS Stockdale ne USS Spruance nga bamasinale ba Iran mu Yemen abayitibwa Hourth be baazikozeeko olulumba nga ziseeyeeya mu liyanja lya Arabian Sea n’agayanja eririnaanye Yemen.
Ennyonyi Ya Amerika Ng'esitula Okuva Ku Mmeeri Emu Ku Zaalumbiddwa
Abayeekera ba Houthi baalayira okufiira ku Bazungu okuva Yisirayiri lwe yalumba Hamas mu Gaza nga Iran y’ebateekamu ssente era n’emmundu ezaabawaze ku Mmande ne bakola ennumba ezo ye yazibawadde. Baakozesezza ennyonyi za drone ezeevuga zokka 8, mizayiro ezikuba emmeeri eza anti-ship ballistic missiles 5 ne mizayiro endala ekika kya anti-ship cruise missiles ne baziwereekereza emmeeri zino.
Omukutu gwa tivvi ya Al-Masirah mu Yemen gwafulumizza ebifaananyi bya mizayiro n’ebikompola bya Bahouthi nga byolekedde emmeeri zombi mu Arabian Sea.
Omwogezi wa Houthi, Yahya al-Sarea yatadde obubaka ku mukutu gwa X (eyali Twitter) obwewaana bwe bakubye n’emmereri ya USS Abraham Lincoln.
Kyokka okusinziira ku mawulire ga BBC, omwogezi w’eggye eryo mu bbanga ku kitebe ky’eggye lya America ekya Pentagon, Maj. Gen. Pat Ryder yategeezezza nti, Abahouthi baagezeezzaako okukuba emmeeri zaabwe naye tewali mizayiro yaabwe n’emu yazituuseeko.
Yategeezezza nti mizayiro, drone n’ebikompola, baabikubidde mu bwengula nga babirengedde nga baakozesezza setirayiti zaabwe ez’amaanyi ne bazisaanyaawo era Abahouthi bye baaliko bya bulimba na kwewaana. Yagasseeko nti bagenda kukola ku kabinja kano bakamalirize.
Ku ntandikwa, emmeeri za America enetissi z’ennyonyi ze zaasoose okukuba Abahouthi mu Yemen okubakendeeza amaanyi ge bakozesa okukuba emmeeri z’ebyobusuubuzi eziyita mu liyanja lya Red Sea era wano olutalo we lwatandikidde.
America yasitudde ennyonyi zaayo ez’amaanyi, bbomu ssaako mizayiro ku mmeeri ya USS Dwight D. Eisenhower ne bakuba Abahouthi. Ebiragiro zaabadde zibiggya ku kitebe ky’eggye lya America ekya US Central Command mu Bulaaya ekyabawadde olukusa okusessebbula Abahouthi.
Kabineeti ya Trump eyawangudde akalulu ka America, yagitaddemu abantu abaakoowa Iran n’abakambwe baayo okuli; Hamas, Hezbollah n’Abahouthi bennyini era babeeweredde nti Trump olumala okulayira, nga babakolako.
Mu myezi ebiri egibulayo, Abahouthi baagala kwesasuza ng’oggyeeko America eyabakubye.Baagala Trump gwe bamanyi enfumita agende okutuula mu ntebe, nga balina ekinene kye bakoze eggwanga lye.
Mu bantu abakambwe Trump be yalonze mwe muli abakwatibwako ensonga z’entalo z’amawanga g’ebweru okuli Pete Hegseth, minisita w’ebyokwerinda ne minisita w’ensonga z’ebweru ayitibwa Marco Rubio.
Bombi ate nga be basaale mu by’enkolagana n’amawanga ag’ebweru, baakoowa Iran n’abakambwe baayo era wano we wavudde eggwanga eryo ne Houthi okupapirira okukola ennumba ku magye ga America agali mu Buwarabu nga Trump tannatuula mu ntebe.