Gen. wa Iran Yisirayiri gwe ‘yasse’ alabise

OMUDUUMIZI w’ekibinja kya Iran ekikambwe ekya Quds Force Brig. Gen. Esmail Qaani, abadde alowoozebwa nti, yattibwa bbomu za Yisirayiri ng’olutalo lutandika alabiseeko mu lujjudde Ayatollah Ali Hossein Khamenei n’ayongera okuwaga.

Gen. wa Iran Yisirayiri gwe ‘yasse’ alabise
By Bukedde Omusunsuzi
Journalists @NewVision

TEHRAN , Iran
OMUDUUMIZI w’ekibinja kya Iran ekikambwe ekya Quds Force Brig. Gen. Esmail Qaani, abadde alowoozebwa nti, yattibwa bbomu za Yisirayiri ng’olutalo lutandika alabiseeko mu lujjudde Ayatollah Ali Hossein Khamenei n’ayongera okuwaga.
Mu ngeri eyeewuunyisa, Qaani yalabiseeko mu lukung’aana gaggadde olwakubiddwa mu kibuga Tehran nga Iran ejaguza olw’okusindika mizayiro ku nkambi y’Abamerica ey’amagye eya Al Udeid Air Base esangibwa e Qatar, mu kikwekweto kye baatuumye ‘Operation Annunciation of Victory’.
Iran mu kusindika mizayiro zino yali yeesasuza olwa Amerika okukuba enfo zaayo eza nyukiriya n’ezisesebbula okuli; Fordo, Natanz ne Esfahan. Wadde nga mizayiro za Iran tezaakosa muntu yenna wadde okwonoona ekintu kyonna, naye Iran egamba nti zaaleka America nga neeraliikirivu ku kiki Iran ky’esobola okukola, ne basaba olutalo luyimirire.
Olutalo luno olukulungudde ennaku 12, lwatandika June 13, 2025 Yisirayiri bwe yalangirira ekikwekweto ‘Operation Rising Lion’ ku Iran, ng’eyagala okusaanyaawo enfo zaayo eza nukiriya, ng’erumiriza nti Iran erina ekigendererwa eky’okusaanyaawo Yisirayiri singa
efuna bbomu.
Ku lunaku olwasooka olw’ekikwekweto kino, omukutu gw’amawulire ogwa New York Times gwafulumya amawulire nti, bbomu za Yisirayiri ze yali esudde ku Tehran zaali zisse Gen. Qaani wamu n’abaduumizi b’amagye abalala kw’ossa Bannassaayansi.
Kyokka mu lukung’aana lw’okujaguza nga bwe baawangudde olutalo, Qaani yalabiseeko enduulu ne zijula okutta bannansi ba Iran, ne bongera okuwaga nti, ku mulundi guno, Yisirayiri ne Amerika baazikeesezza emmundu.
Qaani y’omu ku basajja ba Ayatollah abakambwe ennyo, nga yamukwasa obuvunaanyizibwa okuduumira ekibinja kya Quds Force ekikola ebikwekweto eby’omutawaana ebweru wa Iran, era nga kye kivunaanyizibwa ku kuvujjirira obubinja bw’abakambwe obutigomya Yisirayiri okuli; Hamas e Palestine, Houthi e Yemen, ne Hezbollah e Lebanon, n’obubinja obulala obuli mu Iraq.
Guno si gwe mulundi ogusoose nga Qaani alowoozebwa okuba ng’afiiridde mu bulumbaganyi bwa Yisirayiri. Mu October w’omwaka oguwedde 2024, amawulire gaafuluma nti, yali attiddwa mu ggwanga lya Lebanon gye yali agenze okuluka ennumba ku Yisirayiri ng’ali wamu n’aba Hezbollah.
Wabula waayita ennaku ntono ne kizuulwa nti, yali mulamu tteke mu kibuga Tehran, kyokka nga yali akwatiddwa ku biragiro bya Ayatollah, abeeko by’annyonnyola ku bigambibwa nti, yali abegera Yisirayiri.
Qaani yalondebwa ku buduumizi bwa Quds Force mu 2020, oluvannyuma lwa Amerika okutta Gen. Qassem Soleimani mu Iraq eyali omuduumizi w’ekibinja kino