Abatunda omwenge, abagukola , abagusuubula ebweru w’eggwanga, n’abagunywa bubakeeredde, ebiri mu bbago eryayanjulibwa omubaka Sarah Opendi mu palamenti ku ntandikwa ya November eribalung’amya ku nkozesa y’omwenge bitiisa.
Buli ali mu bizinensi eno ateekeddwa okuba ne layisinsi okuva mu kitongole ekyekebejja omutindo gw’eddagala ekya National Drug Authority.
Bazudde nti ate mu mwenge batabikamu ebiragala ebivudeko abantu okutabuka emitwe, okulwala kookolo, Ssukaali, ekibumba, akafuba n’omutima.
Omubaka Opendi (Mukazi Tororo) bw’abadde alabiseeko mu kakiiko ka palamenti akalondoola ebyobulamu mu ggwanga okukubaganya ebirowoozo ku bbago lya Alcoholic Drinks Control Bill , 2023 akawang’amudde nti abakulembeze bonna basaanye balabule abantu ku nkozesa embi ey’omwenge kubanga etteeka lijja .
Yagambye nti ekigendererwa ky’etteeka lino si kugoba mwenge mu ggwanga wabula okuteekawo amateeka abantu basobole okugunywa mu ngeri ey’obuvunaanyizibwa era kkampuni ezibadde zifulumya omwenge ogwa miiruzi (mills) 200 kati zirina kufulumya 500 nga kino kyakuziyiza ababadde bagukweka mu ngoye ne bagunywera mu bifo ebikyamu.
Nga etteeka liyise, mu nnaku z’okukola okuli Mmande n’Olwokutaano, omwenge gulina kunywebwa wakati wa ssaawa 11:00 ez’akawungeezi ne 4:00 ez’ekiro olwo ku wiikendi (Olwomukaaga ne Ssande), gunywebwe wakati wa ssaawa 6:00 ogw’emisaana n’omukaaga ogw’ekiro ng’obudde bukya.
Eri abantu abataasobole kukwata mateeka ago , bawabuddwa okugunyweranga mu maka gaabwe oba bagende nga mu biduula sinakindi awali obubaga bagunywe kyere kubanga eyo etteeka terijja kubakwata .
Omutunzi w’omwenge tateekeddwa kuguza basaabaze bali mu ttakisi, mwana ali wansi wa myaka 18, n’omukozi wa gavumenti yenna ali mu kyambalo naddala abaserikale kubanga kijja kuba kimenya etteeka lino.
Amyuka ssentebe wa kakiiko, Samuel Acuti Opio ( Kole North County ) akubirizza ababaka obutabalaatira mu nsonga eno kubanga Yuganda okukwata ekifo Ekyokutaano mu nsi ezikyasinze okunywa omwenge mu nsi yonna si mawulire malungi era nga kye kiseera ekizibu kino kinogebwe eddagala.