PULEZIDENTI Museveni aguddewo ekkolero erikola sitaaki okuva mu mawogo n'alagira ababadde bamugya e Buyindi okukikomya okusobola okuwagira ekkolero lino.
Yasinzidde ku kyalo Kiramata mu ggombolola y'e Nabiswera mu Nakasongola mu kuggulawo ekkolero lya Pura Organic Agro Tech Ltd ng'aggalawo okulambula PDM mu greater Luweero n'agamba nti kisanyusa mawogo eyali alimwa okuliibwa okumugattako omutindo n'asaba abalimi okwongeramu amaayi bamatize ekkolero.
Yagambye nti n'amakerenda agakokebwa aba quality chemicals ga kukendeera bbeeyi gye gatundwa kuba sitaaki agakola babadde bamulagiriza kuva Buyindi ekibadde kigaleetera okuseerebwa.
Yagasseeko nti ng'ogyeko okwongera ku bungi bw'emmere olw'obuwunga bwa mawogo ekkolero ligendakfulumya ebikola empapula, omwenge ebirala bitundibwe ebweru w'eggwanga tufune ensimbi.

Museveni
Minisita avunaanyizibwa ku ba musigansimbi Evelin Anite yasiimye pulezidenti okusikiriza bannamakolero ne bongera omutindo ku bikolebwa ekitumbudde eby'enfuna bya bannauganda.
Minisita w'ebyamakolero n'obusuubuzi Gen. Mbadi yategeezezza nti ekkolero lino erikola sitaki okuva mu mawogo erisoose mu ggwanga n'agamba nti alina akatale akamala mu ggwanga n"amawanga agatuliraanidde.
Gen. Mbadi agambye nti ekkolero lya kwongera ku bungi bw'emmere, emmere y'ebisolo n'amakolero agakola eddagala.
Minisita w'ensonga z'abakozi Wilson Muluuli Mukasa yategeezezza nti myaka kkumi egiyise mawogo kyalo kya ttunzi kyokka n'azindibwa ekirwadde abantu ne bamuvaako n'agamba nti ekkolero ke Lizzie abalimi ba kuddamu okweyagala.
Museveni olwavudde wano yayogeredde mu lukungaana gaggadde olwabadde ku kisaawe e Wabinyonyi mu kibuga Nakasongol abantu ne bamuloopera okugobaganyizibwa ku ttaka, okubagoba kunnyanja mwe baaali bavuba amagye ne gaasa amaato ekibasibye mu bwavu n'ebirala
Baamusabye addemu yeesimbewo atwale mu maaso n'enkuaakulana n'okukuuma emirembe.