ABAKYALA bangi bafuna obuzibu nga bafunye embuto wabula olw’obutayagala kugenda mu basawo nga bukyali kubakeberako busajjuka ne bafuna obuzibu nga batuusizza okuzaala.
Dr. Simon Peter Bulwa, akulira eddwaaliro lya Kajjansi Health Centre IV agamba nti, buli mwezi bafuna abakyala abali embuto abatakka wansi wa 70 okuva mu bitundu ebya Busiro South n'ebiriraanyeewo, nga mubaamu abeetaaga obujjanjabi obubasukkako nga balina okubaweereza mu malwaliro amalala.
Yannyonnyodde nti, abakyala abazito basinga kutawaanyizibwa ndwadde ya puleesa y’oku lubuto ng'olumu ebeera waggulu ng'agirina yeetaaga kubeera mu kasenge akeeyawulidde akaabalwadde abayi (ICU) ekimwetaagisa okutwalibwa mu dwaliro eddene nga Kawempe oba Entebbe Grade B.
Buli puleesa eno lw’erinnya, bingi ebikyuka mu mubiri. Kiyinza okuvaako omusaayi obutakwata ng'omukyala amaze okuzaala, okwesika, omwana asobola okufiira munda, oluusi ne maama okufa. Embeera eno etera kulabika ku wiiki 20 (emyezi 5).
Singa puleesa eno ezuulwa mu bwangu, abasawo bayinza okusalawo okuggyamu omwana okutasa obulamu bwa maama singa egaana okukka. Ate waliwo ne puleesa ejja mu wiiki nga mukaaga ng’omukyala amaze okuzaala.
Agamba nti, omukyala yenna eyeeteekateeka okuzaala, kikulu n'ogenda mu basawo abakugu ne bakubudaabuda ne bakuyambako okuteekateeka omubiri gwo nga bakwekebeJja omusaayi ne balaba bw’oyimiridde ku kawuka ka siriimu, siikoseero, obungi bw'omusaayi omubiri gwe gulina n'ebirala kubanga byonna bikulu nga tonnafuna lubuto.
Omubiri ng'onoofuna olubuto gwetaaga ebirungo naddala ebikola omusaayi, ssaako ‘folic acid’ ayamba mu kuzimba obwongo n'enkizi y'omwana, era bw’otokifuna kiteeka omwana mu buzibu bw’okufuna obuzibu ku bwongo oba ku nkizi.
EBIVAAKO PULEESA Y'EMBUTO
Buli mukyala ali olubuto asobola okugifuna obudde bwonna, era okwettanira abasawo abakugu okwekebejjebwa buli luvannyuma lw’ebbanga erimulagirwa. Ebimu ku bireeta puleesa mu b’embuto kuliko:
l Omukazi okuzaala abaana mu basajja ab'enjawulo, kubanga omubiri gwa maama guba gulina endagabutonde y'omusajja gye gwamanyiira ate ne gukyusa.
l Okuzaala ng’oyise mu myaka 40, oba okuzaala ng’okyali muto ddala naddala ku mwana asooka.
l Okubeera n'olubuto olw'abaana abasoba mu omu, n’ebirala.
OBUBONERO BWA PULEESA Y’OKU LUBUTO
lOkuzimba ebigere.
lOkulumizibwa mu kabutobuto.
lOkulumizibwa omutwe.
lOkwesika.
Wabula, Dr. Bulwa agamba nti, owoolubuto ayinza okufuna obubonero buno naye ng’ekimuluma kirala.
BW’OZIYIZA PULEESA Y’OKU LUBUTO
l Genda ew’omusawo omukugu akukebere oyambibwe nga bukyali bw’ozuulibwa nayo, kubanga puleesa esobola okujja obudde bwonna.
l Okwewala okulya omunnyo omungi ng'oli lubuto.
l Okwettanira okulya emmere erimu ebiriisa ebigasa omubiri.
l Okukola dduyiro.
l Okwewala sigala, omwenge n'ebitamiiza eby'engeri yonna.
l Okwejjanjabisa endwadde endala zonna ezikulumba, okugeawataliza omusujja gw’ensiri, ekifuba ne ssennyiga, endwadde z'obukaba, n’endala.
KAJJANSI HCIV BAFUNYE AMBYULENSI
Ssentebe wa disitulikiti ey’e Wakiso, Matia Lwanga Bwanika yakwasizza Dr. Simon Bulwa ambyulensi eyabaweebwa okuva e Japan, okubayambako okusaabaza abalwadde okubaddusa mu malwaliro amanene gye basobola okujjanjabirwa. Yasabye abakulira akakiiko akafuga eddwaaliro okulondoola ebintu ebiweebwa amalwalirookugeawatali
kulindanga gavumenti.
Dr. Bulwa, yategeezezza nti, bafuna abalwadde bangi ababeera beetaaga okwongerayomu malwaliro amanene, kyokka ng’entambula y’ebadde esinga okubatawaanya. “Abakyala abamu tubaggya mu bitundu nga bazaala, abamu tubafuna bazadde abaana abatannatuuka nga beetaaga kubikkibwa n’abakulu okubudaabudibwa, kyokka tubadde tubatambuliza mu ttukuttuku ekibadde eky’obulabe”, Dr. Bulwa bwe yategeezezza.
Yayongeddeko nti, ya kuyambako okutuusa obuweereza eri abantu mu Town Council y’e Katabi, Kajjansi, Kasanje awamu n’ebizinga by’e Bussi