Gavt. etadde amateeka amakakali ku masomero

GAVUMENTI etabukidde amasomero n’amatendekero bw’egataddeko amateeka amakakali agafuga obubaga, okukyalira abayizi ku VD, okugenda okulambula, okulonda kw’abayizi n’abayimbi abapangisibwa okusanyusa abayizi.

Omuzadde ng’atwalidde omuyizi ekimuli kya ssente.
NewVision Reporter
@NewVision

GAVUMENTI etabukidde amasomero n’amatendekero bw’egataddeko amateeka amakakali agafuga obubaga, okukyalira abayizi ku VD, okugenda okulambula, okulonda kw’abayizi n’abayimbi abapangisibwa okusanyusa abayizi.
Ebiragiro bino ebikambwe bikwata ku masomero okutandikira ku ga nnassale, pulayimale, siniya n’amatendero aga waggulu nga   tebaawuddeemu ga Gavumenti
n’ag’obwannannyini.
Minisitule y’ebyenjigiriza  n’emizannyo egamba ekizudde ng’abayizi bali mu katyabaga
olw’ebikolwa ebiboonoona, okubakabawaza, okunyunyunta n’okubaggyiramu ddala empisa  z’obuntu nga kiva ku bibadde  bikolebwa ku masomwero  n’abayizi bwe baba batwaliddwa mu bifo eby’enjawulo
OKULAMBULA (TRIP) 1Abayizi bwe baba bagenda
okulambula okukwata ku kusoma oba okusanyukamu okw’engeri yonna nga kuli bweru wa ssomero, balina kusooka kufuna lukusa okuva ew’akulira abakozi mu disitulikiti bwe gaba masomero ga Pulayimale. 2 Bwe gabeera masomero ga siniya n’amatendekero aga waggulu, olukusa balina kuluggya wa muwandiisi ow’enkalakkalira owa minisitule y’ebyenjigiriza. Balina okulaga ekifo n’ebisale abayizi bye bagenda okusasula awamu
n’okutegeeza poliisi. 3Abazadde n’abalabirira abayizi balina okuwa amasomero olukusa oluli mu buwandiike nga babakkiriza okutambuza abaana  baabwe. Abasomesa kibakakatako okukuuma obutiribiri abayizi yonna gye baba batwaliddwa
era balina okuba nga bambadde yunifoomu.
EBY’AMASANYU 4Abayimbi, bannakatemba, aboogezi ab’enjawulo n’ebibiina by’obwannakyewa ebyogera eri  abayizi, birina kusooka kusengejjebwa  bakulu b’essomero n’abatwala ebyenjigiriza mu kitundu okukakasa nga be basaanidde.
5Buli ssomero oba ettendekero lirina okubeera n’akakiiko  akafuga eby’okwesanyusa nga  kakulirwa omukulu w’essomero,  kaliko omumyuka w’omukulu w’essomero,  omukulembeze w’abayizi avunaanyizibwa ku   by’okwesanyusa n’omukiise
w’abazadde.
6Obudde bw’okwesanyusa  ku ssomero bulina kubeera
bwa misana obutasukka ssaawa 12 ez’olweggulo. Mu biseera by’oluwummula tebalina kutegeka kintu kya kwesanyusa ku masomero.
ENNYAMBALA KU SSOMERO 7Ennyambala embi okuli; obugoye obutippa, enkunamyo, engoye ezitangaala, oba endala eziraga obuwale bw’omunda nga
buli kungulu ewereddwa bunnambiro ku masomero era gye binaasangibwa  bajja kuvunaanibwa mu mbuga z’amateeka.
8Buli ssomero oba ttendekero balina okuteekawo akakiiko akasooka okwekenneenya byonna ebigenda okwolesebwa eri abayizi nga tebinnalagibwa.
SSENTE EZISASULWA
9Tewali ssente za njawulo ziteekeddwa kusasulibwa bazadde nga za kuyigiriza bayizi kintu kya njawulo (co-curricular activities) okugeza; okuzina, okukuba ebivuga, okuzannya omupiira okuggyako ng’okukiyiga kyetaagisa kubafulumya bweru wa ssomero.
Kyokka singa essomero libeera teririna kidiba ekiwugirwamu eky’omulembe (swimming pool) basobola okusabayo abazadde ssente ne babapangisiza awalala. 10 Walina okubeerawo akakiiko akavunaanyizibwa okutegeka okulonda kw’abayizi mu ssomero abalina okuteekawo amateeka agalina okugobererwa.
OKUKYALIRA ABAYIZI
11Amasomero bwe ganaabanga gategekera ennaku z’okukyalira abayizi, balina
okukkaanya n’amalala agali mu kitundu ne baawula ennaku olw’okwewala okutaataaganya abazadde. Singa essomero libeera lirina ‘speech day’ mu ttaamu
kisaanidde babigatte n’okukyalira abayizi ku lunaku lwe lumu. 12Mu kukyalira abayizi
 ewakyali kuddamu kutwala mmere nfumbe. Tewali akkirizibwa kujja na kitamiiza ne bwe kibeera kya muzadde. Abantu abakyalira omuyizi omu tebalina
kusukka bana era tebalina kukolerayo bubaga. 13Omwenge n’ebintu ebitamiiza nga sigala n’ebiragalalagala tebikkirizibwa kubeera ku ssomero, okutundibwa, okunywebwa
era n’aba akikozesezza takkirizibwa kulinnya ku ssomero.
Singa kinaazuulibwa ng’akabaga kaliko omwenge oba batamidde, omukolo gujja kusazibwamu bunnambiro era n’abategesi bavunaanibwe.
14 Amasomero tegalina kusaba  bazadde ssente za kukyalira bayizi, era tebakkirizibwa kufuna bafumbi b’ebweru abasaba abazadde ssente z’emmere. 15Abayizi bwe baba bagenda okulambula ebweru w’eggwanga balina kusooka kukkirizibwaminisitule y’ebyenjigiriza. Olugendo lulina okubeerako waakiri n’omusomesa omu n’abazadde
babiri. Abayizi abataweza myaka 12 tebakkirizibwa kutwalibwa.
Ekiwandiiko kya Minisitule  BUKEDDE kye yalabyeko nga kiriko omukono gw’omuwandiisi w’enkalakkalira owa minisitule   y’ebyenjigiriza, Kedrace Turyagyenda
kyalaze nti, ebiragiro byonna  birina okutandika okukola mbagirawo.
Ekiragiro kya minisita yakiwadde abakulira amasomero, bannannyini masomero, n’obukiiko obufuzi obw’amasomero  ga Gavumenti n’ag’obwannannyini okwetooloola eggwanga  lyonna.
MINISITULE ENNYONNYODDE Omwogezi wa minisitule y’ebyenjigiriza, Dr. Denis Mugimba yagambye nti, ebiragiro bireeteddwa oluvannyuma lw’okulaba ng’amasomero gavudde ku mulamwa gw’okugunjula abayizi naddala ku nsonga z’ebisanyusa n’okulonda kw’abayizi naddala mumatendekero ga waggulu agatali yunivasite.
Mugimba agamba nti, abayimbi abayimba ennyimba eziwemula n’abambala obubi  babadde basusse, ekintu ekiwa abaana ekifaananyi ekibi.
Kuno kwe bagassen’obubaga obumanyiddwa ga ‘Prom’ abayizi mwe booleseza ennyambala n’okupangisa amamotoka ag’ebbeeyi ekintu kye yagambye nti, kirina
okukomezebwa bunnambiro.
Yawadde ekyokulabirako nti, omuzadde amala okusasula ebisale okugeza 1,500,000/- wakati mu bugubi ate ne basaba 500,000/- eza ‘prom’.
Amasomero aganaajeemer     ebiragiro, Mugimba yagambye nti, bajja kuyitibwa mu kakiiko ka minisitule akakwasisa empisa aka Rewards and Sanctions Committee era nga basobola n’okuggyako essomero lyonna ery’obwannannyini layisinsi.
Hasadu Kirabira, Ssentebe w’ekibiina ekigatta amasomero g’obwannannyini ekya National Private Education Institutions Association yawagidde eky’okuteeka
amateeka ku bayimbi kuba mulimu amasomero agatafaayo.
Kyokka tawagira kuwera bayimbi kuba okuyimba lye limu ku ssomo lye basomesa.
Yawagidde eky’okuwera emmere enfumbe, kuba era nabo basangiddwa bakirwanyisa. Naye ate agamba nti, amasomero gandibadde tegakugirwa kufumbira bayizi mmere ya kutunda ku nnaku z’okukyala naddala mu mbeera ng’abazadde bagaaniddwa okutwala emmere.
Enkola y’okukyalira abaana okw’omujjirano basangiddwa baakuwera kuba baakizuula nga kiggya abaana ku mulamwa. Yawagidde okuwera ‘Prom’ n’agamba ebibeeramu tebisaana ku masomero kuba biteekawo obuseegu bwe yayise obukyuseemu.
“Abayizi bambala bubi, bapangisa emmotoka n’abatalina ne batuuka okwewola ate ekisinga obubi abayizi bibayigiriza okweganza ate nga tekirina we kiyambira byansoma” bwe yagambye.

Login to begin your journey to our premium content