EYAFUMISE omusirikale ekiso mu lubuto bwe yabadde agenze okumukwata ku musango gw’okugeezaako okutta mukyala we asimbiddwa navunanibwa oluvannyuma nasindikibwa ku alimanda .
Davis Alinda 30 omutuuze we Katooke Kisimu mu disitulikiti ye Wakiso omusiizi wa langi ku bizimbe yafunye obutakanya ne mukyala we Jackline Nakiwu okukakana ng’afumise Dan Ampadde akulira poliisi ye Katooke Kisimu ekiso mu lubuto nga mu kavuvungano Ampadde yamenyese n’omukono oluvanyuma Alinda yakwatiddwa.
Ensonda ku poliisi ye Kisimu zaategeezza nti Nakiwu bwe yafunye obutakanya ne Alinda nga kigambibwa yabadde ategese ekiso okutematema mukyala we Nakiwu yaddukidde ku poliisi okwekubira enduulu ekyawalirizza Ampadde okusindiika abasirikale okukwata Alinda ng’ono baamusanze tasalikako musale nga yekaliisa nabaagoba ng’ayagala ku batema ng’era abamu ku basirikale baaddukidde mu kaabuyonjo okutaasa obulamu ng’eno gye baakubiridde mukama waabwe .
Ampadde yasitukiddemu abasirikale bonna badduse nga Alinda atabuse natandiika okukuba amasasi ng’agamu gakutte Alinda mu kugulu ebyembi emmudu yesibye n’etaddamu kukuba masasi ekyawalirizza Ampadde okudda emabega nagwa mu mwala ng’eno Alinda gye yamusanze namufumita ekiso mu lubuto namenyeka n’omukono .
Jackline Nakiwu akola ogw’okusiba enviiri e Katooke yategeezezza Bukedde ku ssimu nti bamaze ne bba omwaka gumu n’emyezi esatu ng’amulinamu omwana omu omulenzi ow’emyezi 5 nga yagenda okumufuna yamusanga alinaayo omukazi gwe yazaalamu omwana ng’ono ye yavuddeko obuzibu ng’eby’okugenda n’omwana mu bwenzi si bituufu
Yagasseko nti omukazi abadde ajja akubira Alinda amassimu mu matumbi budde ne banyumya kye yayise ekikolwa eky’obujoozi nga bwe yanenenyezza ku Alinda okukomya akamanyiro kino tekyamumalidde n’akwata omwana nagendanga naye ku mulimu gy’abadde amuweera omukazi gwe yagambye tamumaanyi namuweeka nga bwe yageezezzako okumusaba amuddize omwana n’asalawo okwagala okumutusaako obulabe naddukira ku poliisi .
Yagasseko nti bba takozesa biragalalagala naye tamaanyi lwaki yatabuse natuuka okukola efujjo ku basirikale kuba ensonga yazitegeezzako aba Famire ne bakubira Alinda akwate omwana amuddize Nakiwu n’abagamba nti tajja ku mumuwa okujjako ng’afudde
Ali Kijambu Mubiru akulira eby’okwerinda e Katooke Kisimu ensonga z’abafumbo bano LC ebadde ezimaanyiko ng’era baali babawaadde ennaku biri batuule mu nsonga zaabwe ate Alinda we yafumitidde omusirikale ekiso mu mulubuto , yagasseko nti Alinda abadde takozesa biragalalagala naye abadde anywamu ku mwenge , Alinda yategeezezza nti bino byonna okubaawo yabadde tamaanyi bigenda mu maaso yabitegedde luvannyuma ng’ali muddwaliro e Mulago ku mpingu