Omusajja afunye obutakkaanya ne munne mu bbaala nga banywa, n'amukuba ekikonde ekimusse.
Kigambibwa nti bibadde mu bbaala ya Camp David bar and loung mu kibuga Iganga.
Omusajja ategeerekeseeko erya Musa bw'akubye Gerald Kibira ekikonde ku mutwe n'afa nga baakamutuusa mu ddwaaliro e Iganga.
Kigambibwa nti babadde bali mu kunywa mwenge ku ssaawa nga 6:00a ogw'ekiro, kwe kufuna obutakkaanya n'amukuba n'agwa wansi n'afa nga yaakatuusibwa mu ddwaaliro.
Omwogezi wa poliisi mu Busoga East Micheal Kafayo, agambye nti omuyiggo gwa Musa gugenda mu maaso.