AB’EKITEBE kya NRM ku Kyaddondo Road mu Kampala bali mu kwebuga nga beetegekera okwaniriza Pulezidenti Museveni ku Lwomukaaga lw’asuubirwa okuggyawo ffoomu z’okuddamu okwesimbawo ku bwapulezidenti bwa Uganda ne ku bwa Ssentebe w’ekibiina.
Ssentebe w’akakiiko ka NRM ak’ebyokulonda, Dr. Tanga Odoi yategeezezza bannamawulire nti, ku Lwomukaaga nga 28 June, 2025 bagenda kukyaza Museveni
ng’anonye ffoomu z’okuddamu okuvuganya ku bifo bibiri okuli ekya Ssentebe w’ekibiina n’eky’okukwatira NRM bbendera okuvuganya ku kifo kya pulezident w’eggwanga mu kalulu ka bonna aka 2026.
ABAAGALA EBIFO KU CEC BAGGYAYO EMPAPULA KU LWOKUNA
Tanga yannyonnyodde nti, ng’Olwomukaaga terunnatuuka, akakiiko ke kataddewo olwa 26 June, 2025 abeegwanyiza okuvuganya ebifo by’olukiiko olufuzi eby’oku ntiko by’ekibiina ‘ CEC’ lwe batandika okuggyayo empapula bakomekkereze nga 1 July, 2025.
Mu kiseera kino, okuwandiisa n’okusunsulamu abagenda okukwattira NRM bbendera ku bifo by’ababaka ba Palamenti, ba meeya b’ebibuga, Loodi Meeya ne bassentebe ba disitulikiti mu kulonda kwa bonna kukyagenda mu maaso era ng’abasoba mu 1000 baamaze okusunsulwa.
Omuwendo gw’abayiseewo nga tebavuganyiziddwa nagwo gweyongedde nga kati basoba mu 10 okuli ne minista w’ebyobulamu Dr. Jane Ruth Aceng, ku kifo ky’omubaka omukyala owa Lira City.
BBA WA NAMAYANJA YEESUNGA NAKASEKE SOUTH
Abasunsudwa kuliko, akulira ekibiina ky’abasuubuzi ekya KACITA Thadius Nagenda Musoke ku kifo kya Loodi M eya wa Kampala, Nsereko Charles Kawuma ku Kya Nakaseke South, omwogezi w’akabondo ka NRM mu Palamenti Brandon Kintu ku kifo
ky’omubaka owa Kagoma North, Minisita ow’obutebenkevu Jacob Oboth Oboth ku kifo ky’omubaka owa West Budama n’abalala.