ABATUUZE b’e Mukono n’e Buikwe baakungubagidde eyaliko Ssentebe wa Mukono, Godfrey Kiwanuka Musisi eyafudde mu kiro ekyakeesezza olwa Ssande.
Kiwanuka 82, abadde mutuuze ku kyalo Bukayo mu divizoni y’e Njeru mu disitulikiti y’e Buikwe. Mutabani w’omugenzi, Dr. Christopher Samuel Mayanja yagambye nti, mukadde we abadde atawaanyizibwa ebirwadde eby’enjawulo okuli ssukaali n’omutima nga yafi iridde mu ddwaaliro lya Jinja Regional Referral Hospital gye yabadde amaze
ennaku ssatu ng’ajjanjabibwa.
Kiwanuka yakulembera disitulikiti y’e Mukono wakati wa 1992 ne 2001. Kiwanuka era yakiikirira Buikwe South mu Palamenti mwe baabagira Ssemateeka w’eggwanga
eyasooka owa 1995 (CA). Olw’emirimu gye yakolera disitulikiti y’e Mukono, abakulembeze b’e Mukono bakkaanyizza n’ab’e Buikwe okumukolera kkanso ey’enjawulo ey’awamu nga bajjukira n’okusiima emirimu gye yakolera ebitundu byabwe ne Uganda.
EBYAFAAYO BYE
Yasomerako e Makindi-Najja- Buikwe, Bishop West P/S we yamalira pulayimale, n’asomera ku Bishop S.S n’afuna satifi keeti eya Cambridge.
Yagenda e Nairobi n’akomawo e Makerere University n’afuna ddiguli y’obusomesa. Yasomesa e Ndejje S.S gye yava okuyingira Palamenti ku tikiti ya DP. Yaliko kkansala ku lukiiko lw’eggombolola y’e Buikwe, mu 1992 yeesimbawo ku bwassentebe bwa disitulikiti y’e Mukono bwe yali tennakutulwamu Kayunga, Buikwe ne Buvuma.
Mu 2001, yalondebwa ku bwa RDC wa Kampala.
Kiwanuka Musisi era yali muwandiisi wa bitabo nga yawandiika akatabo k’Oluganda ka Kikonyogo (bakikasuka kulaalira kidda na birimba). Akatabo kano kaateekebwa ku bitabo ebisomesebwa ku mutendera ogwa S1-S4 okumala ebbanga nga kaggyibwako
mu 2006.
Waakuziikibwa leero ku kyalo Mawotto, mu ggombolola y’e Najja mu Buikwe.