ABAKULEMBEZE b'e Busaabala mu ggombolola ya Makindye Ssaabagabo balaajanidde minisita avunaanyizibwa ku by'enguudo n'entambula okubayamba okuggyawo ekisamba ekyazinzeeko ekitundu ku mwalo gw'e Busaabala amaato we gagobera.
Abakulembeze bino byabyogeredde Busaabala ku mukolo gwa Bulungibwansi ogutongozeddwa aba Lotale 'club' y'e Busaabala, okuyonja ekitundu kino.
Eyaliko gavana wa Rotary owa district 9214, Ken Wycliffe Mugisha y'atongozza Bulungibwansi, abatuuze ne bannalotale mwe bayonjerezza akabuga k'e Busaabala n'omwalo. Gavana Mugisha akubirizza abazadde okuwa abaana obudde nga babatendeka mu nkuza ennungi n'okubayigiriza okubeererawo abalala.
Gavana Mugisha asuubizza abatuuze b'e Busaabala nga bwe bagenda okukwatagana ne 'Club' ezitandiisewo 'Rotary' y'e Busaabala okuli eya Konge Lukuli, Bunga, Ggaba ne Buziga okubatuusaako obuyambi bwe beetaaga omuli ne kabuyonjo. Ono era abasabye okukwatagana ne Kanso okulaba nga bakung'aanya kasasiro mu kitundu kyabwe.
Amyuka ssentebe wa Busaabala Sseguya Constantine wano w'asinzidde n'akubira minisita avunaanyizibwa ku by'enguudo n'entambula omulanga okubayamba okuggyawo ekisamba kino.