POLIISI ekutte n’eggalira omukulu w’essomero lya Old Kampala SSS, William Suuna ku bigambibwa nti yasangiddwa aliko ebigezo ebijingirire ebya UNEB bye yabadde
ayagala okugulira abayizi ba S4.
Omwogezi wa UNEB, Jeniffer Kalule Musamba yagambye nti Ssuuna baamukwatidde mu ofiisi ye ng’ali ne Gilbert Luyima omusomesa ku ssomero lya Bank Hill College Zana gwe balumiriza okuba nga yabadde atembeeya ebigezo ebikyamu. Kalule yagambye nti abakwate ekiseera kyonna bagenda kutwalibwa mu kkooti baggulweko emisango ky’okugezaako okubba ebigezo.
Olw’embeera y’obudde ey’obunyogovu, abaana abatawaanyizibwa obulwadde bwa
Asima ne Sickle cell bangi baayisiddwa bubi era abamu baakoze ebigezo nga bali ku macupa mu maaso g’abasawo. Mu ngeri y’emu gye buvuddeko poliisi yakwata Abdu Kareem Seguya 20, eyeeyita Fresh Kareem eyalina omukutu gwa Tik tok ng’agabirako ebigezo bya UNEB ebya S4.
Seguya bwe yatwaliddwa ku poliisi yakkirizza nga bwe yafuna empapula za UNEB enkadde n’akyusa omwaka ku ngulu n’ateekako ogwa 2023. Kino yakikola
ng’agenderedde okulaba ng’afuna abawagizi abawera ku mukutu gwe ogwa Tik tok.
Kalule yagambye nti Seguya agenda kutwalibwa mu kkooti avunaanibwe emisango egyekuusa mu kutambuza ebigezo ebikyamu, okubeera n’empapula za UNEB mu
bukyamu.
ABAKUUMA EBIGEZO BAKWATIDDWA
Poliisi y’e Mpigi yakutte avunaanyizibwa okukuuma ebigezo ng’alina ensawo ku ssomero lya Lukalu SS omuli empapula okuwandiikiddwa eby’okuddamu by’ekigezo kya East Africa History.
Mu kiseera ekyo abayizi baali bakola ekigezo ky’ekimu. Babra Babirye eyabadde ku gw’okukuuma ebigezo ku Bright Future Secondary School e Bwebajja mu Wakiso yakwatiddwa ne Solomon Olal be balumiriza okukkiriza omusomesa okuyingira
ekibiina abayizi mwe baabadde bakolera ebigezo n’atandika okulagirira.
Omukozi wa UNEB, Denis Collon Akwar ye yasanze Babirye ne Olal nga bafuluma ekisenge abayizi mwe baabadde batuulira ebigezo nga beesogga ennyumba z’abasomesa. Ensonda zaategeezezza nti abakwate basuubirwa okuvunaanibwa mu kkooti y’e Kajjansi ekiseera kyonna baggulweko emisango gy’okukkiriza okulagira abayizi