Bakunyizza abakungu mu Minisitule y'Ebyobulamu ku ddagala lya COVID-19

AKAKIIKO ka Palamenti akalondoola ebisuubizo bya gavumenti aka Government Assurance kakunyiza abakungu okuva mu Minisitule y'Ebyobulamu nga bano bakiikiriddwa Minisita omubeezi ow'Ebyobulamu avunaanyizibwa ku guno na guli, Hanifah Bangirana Kawooya bannyonnyole ku nsimbi eziyisibwa okuteekebwa mu kugula eddagala ly'okugema COVID 19 wa gye ziraga.

Ssentebe w'akakiiko Betty Nambooze
By Edith Namayanja
Journalists @New Vision
Kano nga kakubirizibwa  omubaka wa munisipaali y'e Mukono  Betty Nambooze Bakireke bakunyiza abakungu ku ddagala lya COVID 19 gavumenti lye yagula okujjanjaba Bannayuganda wa gye liva wabula.
 
Minisita Kawooya mu kwanukula ategeezezza nga Uganda bw'egula ebitundu 30 ku 100 ku ddagala lino wabula ng'erisinga liva mu badduukirize oba abagabi b'obuyambi mu nkola eya "donations".
 
Abamu Ku Bakungu Mu Misitule Y'ebyobulamu

Abamu Ku Bakungu Mu Misitule Y'ebyobulamu

 
Kino kitanudde ababaka abatuula kakiiko kano okuli owa Kalungu County West Joseph Ssewungu ne beebuuza lwaki eggwanga si lye ligula ebintu ebinji nga bayisa ensimbi ezibikolako mu mbalirira  era ne beebuuza nti singa abagabi b'obuyambi bukya ne beekyanga olwo ye Munnayuganda asasula omusolo okufuna ebintu nga bino abakola atya!
 
Ababaka  era basabye akulira ekitongole ekivunaanyizibwa mu kutereka eddagala ekya National Medical Stores (NMS) alabikeko annyonnyole akakiiko ku nsimbi obuwumbi 18 ezaali ez'okugula eddagala ly'okugema  Covid -19 wa gye zaalaga nga kumpi lyonna lye twakafuna batugabira ggabire.
 
Omubaka Joseph Ssewungu Owa Kalungu County West

Omubaka Joseph Ssewungu Owa Kalungu County West

 
Minisita Kawooya asuubizza okutegeeza ab'ekitongole kino beeyanjule eri akakiiko akadde konna okutangaaza ku nsonga eno.