BAKANSALA ba NUP ku Lukiiko lwa Loodi Meeya bakiise Embuga Katikkiro n'abakuutira okusoma ennyo ku ntambuza y'emirimo bwebaba baakuwereza Bannakampala.
Bano nga bakulembeddwamu Sipiika wa Kanso ya KCCA Zahara Luyirika bakiise e Mbuga n'oluwalo lwa Nsimbi obukadde 2 ne bategeeza Katikkiro nti basanze okusoomozebwa olwa Bajeti entono ennyo eweebwa Kampala ne bamusaba ayogere ku nsonga eno.
Bakansala bano era beyamye nti bagenda kulwana okulabanga
Ennyanja ya Kabaka ekuumibwa nga teyonooneddwa kubanga kye kimu ku by'obulambuzi ebiri mu kibuga Kampala era bino bikatiriziddwa Kansala Hakim Ssawulah avunaanyuzibwa ku bye bizimbe.
Ye Katikkiro Charlse Peter Mayiga mu bubaka bwe obumusomeddwa omumyuka we Asooka AH-Hajji Twaha Kawaase agambye nti ekizibu si Gavumenti kwongera Bajeti ya Kampala nti kyokka Bakansala bateekwa okufaayo ennyo ku Ntekateeka Namutaayika etambuza ekibuga n'ategeeza nti y'evaamu Embalirira ennungi.
Mu ngeri y'emu Katikkiro alabudde Bannabyabufuzi abulumbagana Buganda okugenda empola nti Buganda mwennyango