PREMIUM
Amawulire

Pasita Mulinde ayawukanye ne mukazi we; Abaana 3 DNA ebawandudde

OMUSUMBA John Mulinde ow’ekkanisa ya World Trumpet Mission e Sseguku, ayawukanye ne mukyala we, Sheila Jasmine Mulinde, oluvannyuma lw’okukizuula nti abaana babiri ku basatu be babadde balina si ba Mulinde!

Pasita Mulinde (ku kkono) ng’ali ne Pasita Titus Oundo ku mukolo ogumu ku Hotel Africana nga January 15, 2008. Ku ddyo ye Sheila Mulinde.
By: Bukedde Omusunsuzi, Journalists @NewVision

OMUSUMBA John Mulinde ow’ekkanisa ya World Trumpet Mission e Sseguku, ayawukanye ne mukyala we, Sheila Jasmine Mulinde, oluvannyuma lw’okukizuula nti abaana babiri ku basatu be babadde balina si ba Mulinde!
Mulinde yatuuzizza olukiiko lw’abasumba b’Abalokole abanene mu ggwanga n’abayitiramu byonna buli eyalubaddemu n’awuniikirira. Obufumbo buno kkooti yabusattuludde mu butongole mu May w’omwaka guno, oluvannyuma lw’enjuyi zombi okukkaanya nti eby’okubeera awamu mu bufumbo tebikyasoboka.
Okusinziira ku biwandiiko bya kkooti, Bukedde bye yalabyeko, Mulinde yaddukira mu
kkooti ng’agisaba ebagattulule ne mukyala we mu bufumbo obutukuvu bwe baayingira nga January 22, 2004.
Omusango guno Mulinde yaguteekayo mu 2023, kyokka kkooti w’ebaawulidde nga, bamaze emyaka 10 nga tebali wamu. Oluvannyuma lwa kkooti okubagattulula, Mulinde yasinzidde mu lukung’aana lw’abasumba olwatudde e Lweza, ku luguud lw’e Ntebe wiiki ewedde, n’abattottolera ennaku gye yayitamu ebbanga lye yamala mu bufumbo buno, n’aleka nga bonna bakutte ku ttama! Mulinde yannyonnyodde nti, obufumbo bwe bwalimu obulumi bungi nnyo, naye ng’abikkako okusobola okukuuma ekitiibwa ky’amaka, okutuusa bwe yatuuka n’atendewalirwa. Yattottodde nti mu 2010, byatandika
mpola, nga mukyala  we amukwatidde mu bwenzi n’omusajja omulala, era ne bisaasaana mu mawulire.
Yasalawo okuguma, kyokka n’atuuka ne bamulungira obutwa mu mmere y’awaka, era yabulako katono  okukkirira e Kaganga.
Kyokka olw’obutaagala kuwaawaaza nsonga eno, yasaba abagoberezi be babireke era
ensonga ne zisirika naye nga ne lipooti ya Poliisi yaliwo ng’ekakasa nti baamuwa obutwa. Bwe byatuuka awo, yasalawo baawukane n’omukyala nga takyasobola kubeera mu nju emu naye n’okulya by’afumbye. Wabula wadde poliisi yakakasa nti bwali butwa tewali bukakafu nti omukazi ye yali abumulungidde. Era mu 2015, Mulinde ayongerako nti baasalawo baawukane ne mukazi we naye tebaakiwaawaaza nnyo, era n’asigala ng’amulabirira n’abaana.
Bwe baatandika okukola ku mpapula za kkooti ez’okwawukana, looya yawa Mulinde amagezi nti abaana babatwale ku DNA, bazuuleko ababe bokka baaba alabirira. Wabula nti omukyala yamwesooka mangu n’amugamba nti omwana omuto asembayo teyali wuwe, era n’amubuulira kitaawe. Kino Mulinde agamba nti kyamukuba wala nnyo, ne  kimusiriiza munda mu ye. Wabula byali tebinnaggwa. Bwe baatwala abaana ababiri ku DNA, baagenda okuzuula nga n’omwana ow’okubiri si wa Mulinde, ekyayongera
okumunnyika omutima. Gye byaggweera nga ku baana abasatu Mulinde be yali alowooza nti babe, nga alinako omu yekka, gwe baasooka okuzaala nga baakafumbiriganwa. 

Bye baasazeewo nga kkooti ebagattulula

Mulinde ne mukyala we, bakkaanyizza mu kkooti era ne bateeka omukono ku ndagaano nga May 22, 2025, okwawukana mu butongole buli omu akwate lirye.
Era endagaano egamba nti mukyala wa Mulinde taddangamu kwogera Mulinde kigambo kyonna kya bulimba, naddala byazze ayogera ng’ali n’abasumba ab’enjawulo okuli Wilson Bugembe, David Kiganda, n’abalala, nti ekiseera kye yamala ne Mulinde mu bufumbo, yali atera okumuvuga olupanka.
Era kyakkaanyiziddwaako nti abaana ababiri DNA be yawandula,n babaggyeko erinnya lya Mulinde, kubanga si y’abazaala. Mulinde naye baamulagidde
 sasule mukyala we obukadde 35 bulamba, ng’akasiimo olw’ebbanga lye yamala naye mu bufumbo, baawukanire ddala, Mulinde abeere nga takyavunaanyizibwa
ku kumulabirira  

Abasumba abazze bafuna ebizibu mu maka 

lOmusumba wa House of Prayer Ministries Aloysius Bugingo ne mukyala we, Teddy
Naluswa Bugingo, obufumbo bwabwe bwagwamu nnabe ne batuuka okweyogerera ebisongovu mu mikutu gy’amawulire. Ensasagge yatandika mu 2019, Bugingo bwe yayimirira ku katuuti n’alangirira nga bwayawukanye ne mukazi we Naluswa, ng’amulumiriza ebintu ebiwerako, omuli obutamufaako, okumutyoboola, n’okwagala okubba eby’obugagga by’ekkanisa. Wabula Naluswa naye yazza omuliro n’agamba nti Bugingo yali yafuna omukazi omulala Suzan Makula nga y’amutabula omutwe. N’okutuusa olwaleero kkooti tennaba kubagattulula. lBishop David Kiganda, owa Christianity Focus Centre, mu Kisenyi naye amakaage gaagwamu ensasagge mu 2006,
luvannyuma lw’okulumiriza mukyala we, Hadijah Nasejje okubaligira mu bufumbo
n’omuvubuka Hussein Mukwasi eyali asiika capati. Bano kkooti yabagattulula, era Kiganda n’afuna omukyala omulala. lOmusumba Umar Mulinden owa Gospel Life Church e Namasuba, naye yayawukana bubi nnyo ne mukyala we ow’empeta, Evelyn Mulinde era omukazi n’addukira mu America ng’agamba nti Mulinde asusse obwenzi ate amukuba nnyo. Wabula Mulinde bino yabiwakanya n’agamba nti omukazi agezaako kumwonoonera linnya.
lOmusumba wa Kansanga Miracle Center, Isaac Kyobe Kiwewesi yatabuka ne mukyala
we, Sasha Barbra Rukundo, era okukkakana nga Rukundo addukidde mu kkooti mu 2022, ng’asaba ebagattulule, ng’alumiriza Kiwewesi okumusuulawo. lNabbi Samuel Kakande owa Synagogue Church of All Nations e Mulago, naye yayawukana ne Nabbi munne Loyce Nana Kakande, n’afuna omukyala omulala, mu ngeri eyeewunyisa abangi.
Pasita Stephen Mutesaasira owa Annointed Upper room Church yayawukana ne mukazi we eyali omuyimbi w’ennyimba z’eddiini, Julie Muteesasira era,
mu kiseera kino Julie ali mu Canada. Mutesaasira yafuna omukazi omulala gwe yakuba empeta.

Tags: