PREMIUM
Amawulire

Abantu 79 beebakwatiddwa olw'okukola effujjo mu kwewandiisa kw'abavuganya ku bwa Pulezidenti

ABANTU 79 abagambibwa okwenyigira mu kukola efujjo , okukuba n'okunyaga abantu , be bakwatiddwa mu nnaku ebbiri ez'okwewandiisa kw'abo abaagala entebe ya president.  

Abantu 79 beebakwatiddwa olw'okukola effujjo mu kwewandiisa kw'abavuganya ku bwa Pulezidenti
By: Godfrey Kigobero, Journalists @New Vision

ABANTU 79 abagambibwa okwenyigira mu kukola efujjo , okukuba n'okunyaga abantu , be bakwatiddwa mu nnaku ebbiri ez'okwewandiisa kw'abo abaagala entebe ya president.

Olunaku olwasoose ku Lwokubiri, 44 be baayoleddwa olw'okusala ensawo n'okubba amasimu , pulezident Museveni bwe yabadde asisinkanye abawagizi be ku kisaawe e Kololo mu Kampala , bwe yabadde y'akava okwewandiisa e Lweza.

Abakwate, bakuumirwa ku poliisi ya Jinja road, ng'okubuuliriza n'okubasunsulamu, kugenda mu maaso.

Ku Lwokusatu eggulo, abantu 35 be bakwatiddwa e Kajjansi nga kuno kuliko n'omubaka Allan Sewannyana n'abawagizi b'ekibiina kya NUP abalala olw'okulemwa okugondera ebiragiro n'obutagondera mateeka gakunguudo.

Omwogezi wa poliisi mu Kampala Patrick Onyango, ategeezezza nti , oluvannyuma b'ayimbuddwa ku kakalu ka poliisi ng'okunoonyereza kugenda mu maaso.

Agasseeko nti emmotoka bbiri ne pikipiki 40 , bannyinizo abagambibwa okwetaba mu bikolwa eby'efujjo, ze zaayoleddwa mu kugezaako okuzza embeera mu nteeko.

Tags: